Omubaka akiikirira essaza lya Mukono South, Fred Kayondo kyaddaaki awangudde omusango gw’ebyokulonda ogubadde gumuvunaanibwa omu ku banne bwe bavuganya ekifo kino, Wilson Male.
Mu gimu ku misango egibadde gimuvunaanibwa mwe muli okugulirira abalonzi mu ngeri ey’okubawa enguzi okumulonda, okukoseza akabonero k’ekibiina kya NUP n’eng’ombo y’ekibiina kino mu kiseera bwe yali anoonya akalulu ekintu ekyabuzaabuza abalonzi era nti kyali kimenya mateeka.
Omulamuzi Collins Acellam ,bw’abadde awa ensala ye ku kkooti enkulu ey’e Mukono, akubye ebituli mu mpaaba ya Male omuli okulemererwa okuleeta obujulizi obumala obulumika Kayondo okujingirira emikono gy’abalonzi era n’atakkaanya na nsonga ye ey’okuwa abalonzi ab’enjawulo ebintu omuli ente, embuzi n’ensimbi enkalu ezisoba mu mitwalo 500,000 n’abasuubiza n’okubongera endala ssinga anaawangula akalulu.
Omulamuzi agaanye okukkaanya n’emu ku mpaaba ya Male bwe yalumirizza Kayondo okwekobaana ne poliisi okumulemesa okukuba kkampeyini mu bitundu ebimu, ekimu ku byalinnya eggere mu buwanguzi bwe.
Ono era ategeezezza ng’akakonge akakozesebwa okulonda bwe kaali kaawula obulungi ebibiina era ng’ekibiina ekya Nup ky’akozesa manvuuli ate ng’ekibiina kya DP kyaakozesa akabonero ak’enkumbi era bw’atyo n’atakkaanya na nsonga ey’okuba nti kino kyabuzaabuza abalonzi nga Male bw’akiwanuuza.