Amawulire

Omuduumizi Ateerya Ntama Owa State Research Bureau, Yakuba Kayihura Kibooko E Makerere 

Omuduumizi Ateerya Ntama Owa State Research Bureau, Yakuba Kayihura Kibooko E Makerere 

Bwowulira State Research Bureau ekibinja ekyaali kikola ku kuketta mu Uganda ku mulembe gwa Iddi Amini bangi bakyajjukira embeera eyaliwo ebiseera ebyo, BWIINO akuleetedde Col. Francis Itabuka eyali omuduumizi ateerya ntama owe kibinja kino era akutuusizzaako akawonvu na kagga, era bino abinyumya tebiggwa.

Amannya nze Col. Francis Bukyanagandi Itabuka nnina emyaaka 78 nga ndi muzaale ku kyaalo Itonko mu district ye Namutumba era nga gye nnasomera okuva mu bibiina ebya wansi, mu 1956 nnali nsoma e Namutumba ku Kisiki college essomero eryo lyaali lya pulayimale okutuusa eyali ggavana wa Uganda Sir.

Andrew Cohen bweyajja mu 1957 yakyaalira essaza lye Busiki era essomero nalifuula lya Higher era nnali omu ku bayizi abaasoma obulungi nentwaalibwa okusoma mu Higher okutuuka mu 1960 nnali mmaze okusoma nnayagala okuba omusomesa ne kitasoboka ne ngezaako okuyimba na ba Zaire kati congo nayo byalema wadde nga nnali muyimbi mulungi ku ssomero, nnagezaako okugenda mu East African Railway eyo banna Kenya baatulemesa abaava e Uganda nebateekawo abaabwe, bwe nnakawo eka nenjagala okuyingira amagye naye kitange yagaana okutuuka lwe yanzikiriza okuyingira mu poliisi mu 1960 eno nnakolayo emyaaka ebiri okutuuka mu 1962 omwaaka Uganda gwe yafuna obwetwaaze era ffe twaakola ku byokwerinda bya independence naye ate neesanga ssaaliko ku ttiimu eyali ku bulinzi olunaku lwa meefuga, mu 1963 nnayingira amagye e Jinja ne ntwaalibwa e Moroto ku training nga mmaze okutendekebwa nnamaliriza nnasigalayo nga mpeereza oluvannyuma ne ndeetebwa ku kitebe kya magye e Mbuya mu 1964, tuba tukyaali awo e Kasese waaliyo obuvuyo ku nsalo ya Uganda ne Congo, bwetumala okutereeza ensalo Army Headquarter yayagala abajaasi 25 abokutendeka ebye kikessi era nnali omu kubabiri abasinga ne tutendekebwa ebye kikessi ate nga mu 1965 nnalondebwa okuba ku kibinja ekikuuma pulezidenti sir Edward Muteesa  naye nga nze nkulira ebye kikessi ku ggye erikuuma pulezidenti.

OMWAAKA GWE BIZIBU 1966

Obuzibu bwo kulumbibwa kwo lubiri mu 1966 kyaava ku butakkanya obwaali wakati wa pulezidenti Edward Muteesa ne Milton Obote era Obote yayita mu Attorney General Godfrey Binayisa eyakyuusa ssemateeka okuva ku wa 1962 eyalina enfuga ya federo okumuzza ku wa 1966 ekyaleeta obuzibu, Obote era yeeyambisa Col Iddi Amin era kino telwaali lutalo nti lwapangibwa, Obote yayagala okukikola naye nga atya Brig. Shaban Opolot eyali omuduumizi wa magye kubanga Obote yayagala okubeera pulezidenti ate ne kisanga nga Amini naye yali ayagala okuba omuduumizi wa magye, wano ate obutakkanya ne bubalukawo wakati wa Shaban Opolot ne Iddi Amin era ekyo kulumbibwa kwo lubiri Shaban Opolot teyakimanya kubanga kyaali kya kyaama, wabula nze engeri gye nnali omukessi nnakitegeera nga Kabaka Muteesa amaze okulumbibwa nga ate nnali ku bakuuma pulezidenti Muteesa kwe kuyiiya engeri gye tumutolosa naye nga abajaasi bangi balufiiramu kubanga ne Muteesa mwennyini yali mujaasi mutendeke yeeyambisa obutendeke bwe okwetaasa era nadduka paka Bungereza, awo Obote kwe kufuuka pulezidenti, olubiri lwafuulibwa bbarakisi era ne nkwaasibwa obuvunanyizibwa okukuuma Bulange era Obote nampa okukuuma mukyaala we Miria Kalule Obote e Kawempe. Mu biseera nga Obote ye pulezidenti nnatwaalibwa e Bungereza okwongera okutendekebwa ebye kikessi mu 1968 e Moons Officer College mu Adershot mu Bungereza era nnafuuka senior officer owa State Research wadde nga abasinga obungi bamanyi nti Amiin ye yatandikawo ekitongole kino naye mu kiseera Amiin weyafuukira pulezidenti yakisangawo nga kikettera munda mu ggwanga.

AMIIN AFUUKA PULEZIDENTI MU 1971

Amiin weyafuukira pulezidenti nnali nnakakomawo okuva e Bungereza mu kutendekebwa ebye kikessi era wano nnali British commissioned era nnatandikirawo okukakkalabya okusinziira ku bukugu bwe nnaliko pulezidenti yankwasizaawo okukulembera State Research Bureau (SRB) kubanga kye kyaali kikettera munda mu ggwanga, era ne mpeebwa okubeera ADC era nga nze chief bodyguard akulira eggye erikuuma pulezidenti kubanga nnalina obukugu obumala, SRB yalimu ebiwayi bibiri, ekikettera munda mu ggwanga ne kikettera ebweeru we ggwanga naye byonna nze nnali mbikulira, kyolina okumanya nti State Research Bureau Amini ssiyeyagitandika wadde nze wabula kyaaliwo nga kikola emirimu gyaakyo egye kikessi okujjako nti Amiin yakyongeramu maanyi na bukugu.

NNADUUMIRA MAGYE GAKUBE ABAYIZI KIBOOKO ABAALI BEKALAKAASA E MAKERERE

Mu 1976 waaliwo okwekalakaasa kwa bayizi ba ssettendekero e Makerere, akediimo kaali ka maanyi naye nga abayizi teboogera lwaaki bediimye kubanga buli kimu kyaaliyo ku ssomero era obuweereza bwaali bwa bwereere nga ate gavumenti yali ebawa ne ssente, Kale Kayihura ye yali akulembeddemu akediimo kano, minisita we byenjigiriza yagendayo nalemelerwa okukkakkanya abayizi bwaatyo yagenda mu State House e Nakasero okutegeeza pulezidenti ekibaddewo, nange olunaku olwo ku ssaawa bbiri ezokumakya nnali nnina bye nngenze okubuulira pulezidenti wange, naye yye teyampa mukisa nannesooka nanngamba nti Francis nsanyuse okukulaba naye genda olabe ekiri e Makerere, ensonyi zankwaata kubanga minisita we byenjigiriza nga ali awo ate pulezidenti nandagira okugenda okulaba abediimi e Makerere, kye nnakola kwe kuyita aduumira Military Poliisi e Makindye nemmuwa ebiragiro bya butafulumya ssasi na limu kubanga abo bayizi baana ssi balabe ba ggwanga era ne mmulagira okusooka okutegeeza basajja be obutakuba ssasi wadde ekibwaatuka kyonna ku kasozi okwo,  nga kyebalina okukola kugenda kufuna miggo ewa Kisekka, ne mbalagira okukuba buli eyekalakaasa kibooko okutuusa lwe bayoogera eyabakulira okwediima nga ye Kale Kayihura, twabakuba emiggo awo wennyini ne mbalagira okuddamu mangu mu kibiina kubanga bajja kusoma, mba kugamba nti university tugiggale yandiggaddwa naye nga eggwanga lye lyaali lifiirwa kubanga University emu bweeti ate okugiggala nnalaba nga tekisoboka ate nga gavumenti ye yali essaamu ssente mu buli kimu, lye ddagala lye twanogera abeekalakaasi era tewali yakiddamu era baasoma nebavaamu abantu abo buvunanyizibwa nga mutabani wange Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi.

Poliisi ya leero terina bukugu bumala okukkakkanya obujagalalo okujjako ttiyaggaasi ate nga obwo butwa bwennyini ate butwaaliramu nabatabiriimu naye kibooko ekwaata oyo yekka akirimu, era ssinga ttiyaggaasi aggwaawo olwo baba bakozesa masasi ku batali balabe ba ggwanga, ekyo nkissa ku butaba na bukugu mu kutendekebwa.

OLUTALO LWA 1979

Olutalo luno mu kulaba lwaava ku kukyokoozaganya kwa magye agaali gassibwa ku nsalo eya Uganda ne Tanzania nga byaava ku ttamiiro lya bajaasi ba Tanzania abajja ne banywa omwenge ku ludda lwa Uganda ne bakola effujjo era gye byaggweera nga bakubye na bamu ku be baali banywa nabo ate nga mwaalimu na bajaasi ekyaviirako okukubagana, abe Uganda ne bagenda okunona emmundu zaabwe mu bbarakisi bagenda okutuuka nga aba Tanzania bagenze, aba Uganda bwe bagenda e Tanzania ate bo baakola effujjo elyaabwe mu kwesasuza nebayitawo kubanga baakubayo na masasi, eyo yeyali emmanduso yo lutalo olwo, naye ate nga lwaalimu banna Uganda abaali e Tanzania nga baagala kudda, bwetwatunulamu nga olutalo luno lulimu banna Uganda emabega era nga waliwo ne nsi endala nnyingi ezibali emabega, twaasalawo obutalwaana kubanga baali bagenda kwonoona Uganda awo pulezidenti Amiin yalagira obutalwaana ne tudda emabega naye abajaasi baffe bangi battibwa mu lutalo olwo, buli omu yadduka okutaasa obulamu era nze nnaddukira Nairobi okutuusa bwe byaggwa naye nga ne wange wano bajja nga bannonya okunzita naye tebansanga obusungu ne babumalira ku kwonoona bintu, nga olutalo luwedde nnakomawo okutandika obulamu.

Mukiseera wennaddira nga Museveni ali mu nsiko ze Luweero muyeekera, yafuna amawulire nti nkomyeewo era yatuma ababaka nga ayagala mmwegatteko tukole naye, wabula nnali nnakoowa ebye ntalo ne nngaana, mu Jan 1986 Museveni yafuuka pulezidenti era mu bwangu ddala yassaawo okunoonya ku bajaasi abaali mu gavumenti ezaayita era nze ne bampita ku Uganda Human Rights Commission eyali ekulirwa Edward Kiwanuka Ssekandi bwe nnagenda bansindika mu kkomera e Luzira emyaaka ebiri, bwe nnavaayo ne bampa Court Bail ya myaaka 10 nga bagamba nti nnelipotinge buli mweezi naye bwe nnadda eka ssaddayo kulinnyayo paka kati, era bakizuula nga ssirina musango gwonna

EMBEERA MWAALI KATI

Nnasooka ne nzibuwalirwa obulamu ne bizibu nga bingi okukamala omwaali na baali banjigga okunzita naye olwo kusasira kwo Mutonzi nnasobola okuwonawo, wabula nejjamu ekyo kusaba gavumenti okunnyamba nga nkyasobola okweyamba, nnina ettaka lyange eriweza yiika 700 nga lino nnaligula ssaalibba kubanga ffe tetwaali babbi kubanga ne mu biseera byaffe nga okubba nokwaatibwa kaali kalabba, nnasalawo okwekozesa nga nnima era kati nfuna omusaala ogutali gwa gavumenti naye ate nga gusinga nogwa gavumenti era wendi ssijula, era naawe owa ssekanolya ntunuulira ku myaaka 78 gye nnina nfaana alumwa enjala?? Obubaka bwange eri bajaasi baana bange abakyaali mu service, ebintu bikyuuka oba oyagala oba toyagala kale kwetegekere enkyuukakyuuka yammwe.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top