Omugagga Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham era nannyini wa kampuni ya Kiham Enterprises atutte Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mu kkooti nga awakanya ekya Kamisona okusazaamu ebyapa byeyali yafuna ku ttaka lya Kabaka e Kigo mu bukyamu.
Ham agamba nti Kamisona w’ebyettaka Baker Mugaino yakola ensobi okusazaamu ebyapa bye ebiwerako yiika 140 nga byonna bisangibwa Kigo mu disitulikiti ye Wakiso.
Kiggundu nga ayita mu bannamateeka be aba Muwema and Company Advocates, omusango agututte mu kkooti enkulu ekola ku nsonga z’ebyettaka nga alumiriza nti Kamisona Mugaino yalina kyekubira bweyali alung’amya ensonga ze.
Mu biwandiiko byetulabyeko ku mpaaba eno, Ham agamba nti Kabaka yekobaana ne Mugaino nebasazaamu ebyapa bye nga tebagoberedde bitendera mituufu era kati ayagala ekiragiro Kamisona kyeyawa kisazibwemu addizibwe ettaka lye.
Ham akakasa nti ekobaane lino lirabikira mungeri Mugaino gyeyasazaamu ebyapa byeyafuna ku ttaka lya gavumenti eriwerako yiika 223 nga yekwasa nti lyali liyingirako yiika 29.9 ku ttaka lya Kabaka .
Ono annyonnyodde nti kikyamu okusazaamu ebyapa bye olw’ensobi ezaaliwo nga balipunta nga tamaze kukkaanya nabo ku nsonga eno.
Gyenvudde w’ensonga eno
Nga September 6, 2022 akola nga Kamisona awandiisa ettaka mu Minisitule y’ebyettaka, Baker Mugaino yasazaamu ebyapa bya kampuni ya Kiham Enterprises eya Hamis Kiggundu.
Kino kyaddirira Ssaabasajja Kabaka okwemulugunya ku ngeri Ham gyeyali afunyemu ebyapa bya Freehold ku ttaka lya Beene erya Mailo.
Omutanda era yeewuunya lwaki Ham yali aweereddwa ebyapa mu lutobazi lw’ ennyanja Victoria mu ngeri eyali eyamankwetu.
Bweyali awa ensala ye ku nsonga zino yeesigama nnyo ku ngeri ebyapa bya Ham gyebyali bikubiddwa nga bituula ku byapa bya Mailo ebyaliwo.
Mugaino yakakasa nti ebyapa bya Ham byali bitudde mu ntobazi ekintu ekikontana n’amateeka.
“Nga nkozesa obuyinza obumpeebwa akawaayiro nnamba 91 (2) ak’ettaka lye ttaka, nzudde nti ebyapa bino Kyadondo Block 273 Plots 23974, 23975, 23976, 239777 ebyakubwa okuva ku 23977, ne Plot 23720 byakolebwa mu bukyamu era mbisazizaamu,” Mugaino bweyawa ensala ye.
Ono yategeeza nti abo abaali batamatidde nansala ye balina eddembe okujjulira mu nnaku 60 era kino Hamis Kiggundu kyeyakoze.
Omwogezi w’ ekitongole kya Buganda Land Board, Denis Bugaya akakasiza nga bwebafunye ebbaluwa ekakasa nti Ham yatutte Nnyinimu mu kkooti era bannamateeka babwe bali bulindaala era akakasa nti kkooti ejja kusala amazima.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde, Obwakabaka bwa Buganda bwavaayo nebuyimiriza Kiggundu okuzimba oluguudo wakati wa Mirembe Villas ne Serena Kigo asobole okutuuka ku ttaka lyakaayanira kati.
Obwakabaka bwavaayo nebukakasa nti ettaka Kiggundu lyeyeesibako lyali lya Kabaka era ebyapa yali abifunye mu bukyamu era ensonga nebazitwala ewa Kamisona.
Oluvannyuma Kamisona yalagira enjuyi zombi okwerula empenda okuzuula amazima ku nsonga eno era nasaba buli ludda okuleeta abapunta.
Alipoota ezaakolebwa abapunta eri Kamisona Mugaino, zalaga nti ebyapa bya Ham ebya Freehold ku Poloti nnamba 23974, 23975, 23976 ne 23977 biyingira mu byapa bya Kabaka ebya Mailo okuli ekya Poloti nnamba 38, 87, 99 ne 110.
Mugaino agamba nti kino kimenyeza ddala amateeka era ono agamba nti ebyapa nebwaba Ham yabifuna ku ttaka lya gavumenti , abe Wakiso bakola kikyamu okumuwa olutobazi lw’ennyanja Nalubaale.
Ono era agamba waliwo akabuuza ku makubo Ham geyayitamu okufuna ebyapa bino kuliko akabuuza kuba n’akakiiko k’ebyettaka Ham keyakozesa tekalina lukusa ku ttaka lya kitundu kye Kigo ekiri mu Makindye Ssaabagabo kuba obuyinza bwabwe bukoma mu Kajjansi Ttawuni Kkanso.