Amawulire

Omugagga W’e Mukono Muzzanganda Affesa Lwakunyaga Ttaka

Omugagga W'e Mukono Muzzanganda Affesa Lwakunyaga Ttaka

Kkoti  enkulu  e  mukono  esingisiza  omugagga  w’  emukono  SSaababendobendo  Willison  Mukiibi  Muzzanganda  okwamuka  ettaka  lyabadde  akayanira  ne  Haji  Badr  Kavulu  kitaka   omutuze  w’e kateete   mu  ggombolola  y’e  kyampisi  mu  district  y’e mukono  nga  lisangibwa  ku  plot 1990 block 149  Kateete  kyaggwe. nga  liwereaza  ddala  yiika 9.

okusinzira  ku  haji  kavulu  eyagula  ategezeza  nti  yasooka  kugula  kibanja  ku Peter  Nkoyoyo  kezala    mu  mwaka  2017 n’oluvanyuma  mu mwaka  gwa 2008 nga  16 omwezi  ogwomwenda  yegula  mu ttaka, mu  mwaka  gwa  2017  muzzanganda  yagula  ekibanja  okumulirana  natandiika  okweyongeza  ewakitaka  nga  bwasimba  ne  ssengenge.

Haji Kitaka Kavulu

kitaka  ategezeza  nga  muzzanganda  bweyewuba  ewuwe  enfunda  eziwera  ng’ayagala  amuguze  ekifo  kino  kyeyagana  nagenda  mu  maaso  okusiba  ssengenge  ku  kibanja  kya  kitaka   namulekerawo  yiika  emu  yoka  ,  ono  mu  kiseera  kino  yateka  abasirikale  ku  ttaka  abakuba  abaana  n’omukyala  nga  bagezako  okukima  emmere  mu nnimiro

kitaka  ategezeza  nga  bwe yaddukira  ku  police    e  Nagalaggama   nagulawo  omusango  nga  12/ nov/ 20202 ku  faayiro  namba  33/27/10/20/20  ref  29/25/ 10/ 2020 .

Wabula  ono  yalinga  muzibe  alingiza  olwobutayambibwa    bwatyo  yaddukira  ku  police  etwala  kampala  n’emirirano  eyalagira  police  y’e  Nagagalama  okugyako  ssengenge kyokka  era  yelemererrwa  oluvanyuma  lw’ omuddumizi  wa  police  Grace  Nangoma  okutegeza   nga  ensonga  bwezali  zimususe.

Byonna okugana  yasalawo  okuddukira  mu  kkoti  nagulawo  emisango  ebiiri  omuli  ogwokusaarimbira  ku  ttaka  lye no’kumukakasa  ku  bwanayini namba 236/ 2020l,  okumwonenera  emmere,  akuuba  abaana  n’omukyala  namba 388/2020.

Oluvanyuma  lwokuwuliriza  obujjulizi  obwaleteddwa  omulamuzi  yatyemudde  nga  Muzzanganda  bweyesenza  ku  ttaka  mu  bukyamu  bwetyo  nemulagira  okulyamuka  mu  bwangu  ddala obutadamu  kulinyako kigere.

mungeri  yemu  kkoti  yalagidde  muzzanganda  aliyirire  kitaka  ensimbi  zonna zaasasanyiza  mu  musango  guno,  woosomera  bino  ba  pulidda  ba  kitaka  bali  mukubalirira  nsimbi  zebasasanyiza  mu  musango  guno.

Wabula   emisango  omuli  okwonona  ebintu  omuli  emmmere  nokukuba abantube gyakuwulirwa omwezi okugya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top