Amawulire

Omujaasi wa UPDF eyatta omuntu asibiddwa mayisa.

 

Kooti ewozesa bannamagye eyékibinja ekyokutaano mu district ye Agago ekalize musajja waayo Private Mukanja Micheal n’ekibonerezo kyakusibwa mayisa,emulanga kutta muntu mu bugenderevu.

Okusinziira ku Ssentebe  wa kooti eno Col Ismail Ssendagire, omuserikale Mukanja yasasira Omol Justine amasasi agaamuttiraawo nga 31 May,.2023, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya bwebaali ku kisaawe kyÓmupiira ekisangibwa ku kyalo Kokil mu gombolola ye Paimol.

Kooti era ekalize private Okello George emyaka 30 mu nkomyo, nga emulanga kukuba Odwel John Amasasi agaamulemaza, bwebaafuna obutakkaanya nga 27 August,2023.

Amasasi yagamukuba oluvannyuma lw’okulwanagana, baali mu gombolola ye Kato esangibwa mu district ye Agago.

Mungeri yeemu omuserikale omulala private Ssekajja Ivan akaligiddwa emyezi 14 nga musibe, oluvannyuma lwokulagajjalira ebintu byÁmagye omuli ebyambalo némmundu, nebisangibwa n’abantu abatali baserikale.

Emisango gino gyonna gisaliddwa mu lujjudde lwÁbantu mu bitundu gyegyazzibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top