Abakulu b’amasomero n’abazadde basabiddwa okutandiika okuvaayo n’enteekateeka ennungamu eziyinza okukulaakulanya amasomero gaabwe kubanga bwe buvunanyizibwa bwabwe n’akubiriza abayizi okufuba okutya Katonda basobole okubeeera okuyitimuka mu nsi eno olw’okuba ye ntandiikwa ate enkomerero.
Okusaba kuno kukoleddwa Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala mu Bussaabadiikoni bw’eNakibizzi bw’abadde alambula n’okusiibula esomero lya Ssunga Church of Uganda Primary School,Nyenga Church of Uganda Primary School awamu ne Nyenga Senior Secondary School, Kiguddu mu Busumba bw’e Nyenga ng’ono ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Ven Canon George William Kityo,Abasumba,Ababuulizi n’abantu ba Katonda bonna.
Omukulu w’esomero lya Nyenga Church of Uganda Primary School Margret Kwagala Nsegga n’amyuka omukulu w’esomero lya Ssunga Church of Uganda Primary School Janet Namulondo banjulidde Omulabirizi Ssebaggala okusomooza kwe basanze naddala abazadde abamu abatagala kuwaayo byetaagisa kusomero ,abaana abalala tebagala kusoma.
Bw’abadde asiibula abayizi bano ate nga naye yasomerako eno mu kibina eky’omusanvu mu mwaka 1972 , Bishop Ssebaggala asabye abakulu b’amasomero n’abazadde okutandiika okuvaayo n’enteekateeka ennungamu eziyinza okukulaakulanya amasomero gaabwe kubanga bwe buvunanyizibwa bwabwe n’akubiriza abayizi okufuba okutya Katonda basobole okubeeera okuyitimuka mu nsi eno olw’okuba ye ntandiikwa ate enkomerero.
Wabula ye omukubiriza w’abakristaayo mu Bussaabadiikoni bw’eNdeeba ate nga ye mukulu w’e Somero lya Nyenga Senior Secondary School,Nelson Kanyike yeebaziza nnyo Katonda olw’Omulabirizi Ssebaggala kubanga ebintu bingi ebitukiddwako ku somero lino mubuweereza bwe okuva mu bantu ab’enjawulo nga bayiita mu ye.
Omukolo guno gwetabiddwako Provost wa Lutiiko y’Omutukuvu Firipo ne Andereya e Mukono,The Very Rev Canon Enosi Kitto Kagodo era nga yamyuka Ssentebe w’olukiiko olukulembera esomero lya Nyenga SSS,Vicar wa Lutiiko Rev Edward Muyomba Ssenyonga nga yabaddewo kulwa abayizi abasomerako eNyenga SSS, Eyali Ssentebe wa Abaami abafumbo mu Bulabirizi Jovan Sserwanga nga baamwebaziza olw’okutandiika esomero lino mubutongole mu mwaka gwa 1967,Abakulembeze ab’enjawulo,Abasumba ,Ababuulizi,Abakulu b’amasomero awamu n’abazadde.