Amawulire

Omulabirizi Ssebaggala asabye abakristaayo okulekeraawo okwenyoma.

Omulabirizi Ssebaggala asabye abakristaayo okulekeraawo okwenyoma wabula bafube okukolera awamu ng’enkuyege olw’okukulaakulanya Obuweereza bwa Katonda era bafube okubeera n’okukkiriza mu Katonda kubanga buli kimu kisoboka so si mmwe ng’abaana b’abantu.

Okusaba kuno Omulabirizi w’eMukono,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala akukoledde mukusaba kw’okwebaza Katonda n’okusiibula Abakristaayo b’eKkanisa y’Omutukuvu Apollo Kivebulaya Namulanda mu Bussaabaddikoni bw’eNdeeba ng’ono awerekeddwako Maama Tezirah Ssebaggala era ng’ayaniriziddwa Ssaabadiikoni w’eNdeeba,Ven Charles Bukenya,Abasumba,Ababuulizi n’omukubiriza w’abakristaayo mu Bussaabadiikoni buno Nelson Kanyiika n’abantu ba Katonda bonna.

Bishop Ssebaggala agamba Abakristaayo bangi beenyoma nebatabaako kyebakola n’olwekyo bano abasabye okulekeraawo okwenyoma wabula bafube okukolera awamu ng’enkuyege olw’okukulaakulanya Obuweereza bwa Katonda era bafube okubeera n’okukkiriza mu Katonda kubanga buli kimu kisoboka so si mmwe ng’abaana b’abantu.

Okusaba kuno kwetabiddwako Omukulu w’esomero lya Lubiri SSS ,Godfrey Ssentongo Ssempa atagezeza nti Katonda asiitula abantu n’ekigendererwa n’okubako kyebakola ku nsi n’olwekyo yeebaziza Bishop Ssebaggala olw’okuzimbira abakadde Pension House ekizimbe ekigenda okuyamba abaweereza abawumuze kubanga bangi tebafibwako.

Wabula ye akulembeddemu enteekateeka eno nga ye Mukubiriza w’eKkanisa eno,George William Muwanga asabye abaweereza bonna bwebakulonda mukifo kyonna okufuba okukola ennyo  n’amanyi go gonna okusobola okulekaawo omukululo era neeyabaza Omulabirizi Ssebaggala olw’enkolagana ennungi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top