Amawulire

Omulabirizi Ssebaggala asabye abakulembeze obutava mu Kkanisa

Omulabirizi Ssebaggala akalatidde abantu ababa besimbyeewo mubukulembeze obw’enjawulo obutava mu Kkanisa wabula bateekewo enkolagana ennungi eri Katonda kubanga kyekiyinza okubaletera obwavu n’alabula abakristaayo abakyalemedde mukusamira n’olwekyo bayigirize abaana baabwe okwesiga Katonda.

Bino Omulabirizi w’eMukono Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala aby’ogeredde mukusaba kw’okusako abaana 70 emikono ku Kkanisa y’Omutukuvu Fiiripo Kayini ku kitebe ky’Obusumba n’okusiibula abakristaayo b’Obusumba bw’eKayini mu Bussaabadiikoni bw’eKasawo ng’ono awerekeddwako Maama Tezirah Ssebaggala ng’ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Moses Munaku ne Maama Margret,Abasumba,Ababuulizi ne Dr Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi eyavuganyako ku kifo kya Mayor wa Mukono mu kalulu akaweedde 20221 ne Councilor Piriton ng’ono yakirira eGgombolola lya Kasawo mulukiiko lwa District ye Mukono n’abantu ba Katonda bonna.

Omusumba w’Obusumba bw’eKayini, Rev John Mitala yeebaziza Katonda olw’obusumba buno okukyukako naddala muby’enyingiza yadde balina okusomooza nti abantu bangi bakyalamedde mubusamizze kyokka abalala nebadda mukuzimba amasabo ,abasajja abaamu tebagala kusaba.

Bw’abadde asiibula Abakristaayo b’Obusumba buno oluvanyuma lw’okusako abaana 70 emikono,Bishop Ssebaggala atendereza nnyo Dr Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi olw’okwagala n’okuwagira eKkanisa n’akalatira abakulembeze abalala okufuba obutava mu Kkanisa wabula bateekewo enkolagana ennungi eri Katonda kubanga kyekiyinza okubaletera obwavu n’alabula abakristaayo abakyalemedde mukusamira n’olwekyo bayigirize abaana baabwe okwesiga Katonda.

Okusaba kuno kwetabiddwako omusumba omubeezi owa Natete mu Bulabirizi bw’eNamataba ng’ono ayakolako n’Omulabirizi Ssebaggala mu Busumba bw’eNamataba  nga ye Mubuulizi Rev Abraham Kisakye ategezeza nti okukola Bishop Ssebaggala otekwa okuba ng’oli mukozi nnyo ate ayagala nnyo abantu bonna okwetaba mubuweereza mumugendo gwa PICO n’asaba abaweereza bonna kumitendera egy’enjawulo okubeera n’enkolagana ennungi n’abali kumaddala aga wansi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top