Amawulire

Omulabirizi Ssebaggala asabye bana Uganda okusiima Gavumenti.

Omulabirizi Ssebaggala asabye bana Uganda okuvangaayo okusiima ebimu ku bintu Gavument bye bakoledde mubitundu byabwe n’asiima Minister Lugolobi olw’okukolera ekitundu kye n’amusaba okutuusa omulanga gw’amasomero agasinga agatalina Kabuyonjo ekintu ekiyinza okuviirako abaana okufuna endwadde ezz’enjawulo.

Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala okwogera bino asinzidde mu Busumba bw’eNamagabi bw’abadde alambula esomero lya Kiwangula Church of Uganda Primary SchooL,Kibuzi Church of Uganda Primary School awamu ne St Peter’s Kibuzi Secondary Scchool mu Bussaabadiikoni bw’eNdeeba  nga ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Ven Charles Bukenya,Abasumba ,Ababuulizi,Abakulu b’amasomero,Abasomesa n’abantu ba Katonda bonna era ng’ono ayambibwako Omubaka Lugolobi baguddewo ekizimbe ekimubuddwamu Bishop James William Ssebaggala Block

Nabirye Brenda nga ye mukulu w’esomero lya Kiwangula Church of Uganda Primary School ne Nabala Daniel owa Kibuzi Church of Uganda Primary School babuulide Omulabirizi Ssebaggala okusomooza kwe basanze  omuli okuba n’ebizimbe ebikadde ate nga ne Kabuyonjo tezibamala ate abazadde abaamu tebagala kuwaayo byetaagisa ku somero kyokka n’abasomesa batono.

Bw’abadde asiibula abayizi bano n’abazadde,Ssebaggala ategezeza nti bana Uganda bandivuddeyo nebatandiika okwebaza Gavumenti olw’ebintu ebimu ebikoleddwa nga biri kumutindo gwa wagulu byabwe n’asiima Minister Lugolobi olw’okukolera ekitundu kye n’amusaba okutuusa omulanga gw’amasomero agasinga agatalina Kabuyonjo ekintu ekiyinza okuviirako abaana okufuna endwadde ezz’enjawulo.

Omukolo guno gwetabiddwako Minista omubeezi ow’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eGgwanga ate nga ye Mubaka akikirira Ntenjeru North,Kayunga  mulukiiko olukulu olw’eGgwanga Hon Amosi Lugolobi  nga asoose okugula akatabo ka *(OMUKULULO -THE LEGACY OF BISHOP SSEBAGGALA)* obukadde bubiri n’akubiriza abazadde okufuba okukozesa omukisa gwe bafunye ogw’esomero lino kubanga basuubira okufuna abayizi okuva mubitundu eby’enjawulo okusinzira kumutindo gweliriko okusinga okugulabanja omukisa guno.

Wabula ye Omukulu w’esomero lya St Peter’s Kibuzi Secondary Scchool,Musoke John agamba nti balin bakyalina obuzibu obw’okukyusa endowooza y’abazadde abaamu abatagala kuwaayo byetaagisa era nga n’embera y’ebyenfuna mu Ggwanga abazadde abasinga bakalubiriddwa nnyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top