Amawulire

Omulamuzi wa kkooti evunaanyizibwa ku kutawulula enkaayana n’emisolo mu KCCA awabudde.

Omulamuzi wa kkooti evunaanyizibwa ku kutawulula enkaayana z’ebizimbe , ettaka n’emisolo gy’amayumba mu KCCA , Samuel Muyizzi mulindwa alabudde aba KCCA abagya emisolo ku mayumba agatali ku Pulaani n’ezo ezisulwamu. Oklabula kuno Muyizzi yakukoze bw’abadde asemberezza abantu kkooti eno nga yatuuziddwa e Mutungo mu munisipaali y’e nakawa okuwulira okwemulugunya kw’abantu nga muno mwabaddemu ne balandiroodi abaawaddeyo okusomoozebwa okutali kumu kwe bakyasanga mu nkola y’okuwooza emisolo ku mayumba. Abamu ku balandiroodi essira baalitadde ku ngeri aba KCCA gye bagerekamu omusolo gw’amayumba gaabwe gabinikiddwa emisolo mingi ddala nga n’oluusi omusolo ogumu ate guteekebwa ne ku nnyumba ezisulwamu obusulwa nga tezipangisibwa kye bagamba nti si kya bwenkanya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top