Amawulire

Omulangira Felix asabye abazadde okufaayo eri abaana.

Omulangira Felix Muteesa asabye abazadde bulijjo okufaayo okukuuma abaana babwe era bababeerere eky’okulabirako mu biseera by’eggandaalo ebinatera okutandika  wamu n’oluwummula.

Okusaba kuno, Omulangira Felix  Muteesa akukoze atikkula Amakula okuva mu bannakyaddondo mu Lubiri e Mmengo.

Omulangira Muteesa era asabye abazadde okufuba okwagazisa abaana obuwangwa ne nnono zaabwe kyoka nafalaasira abaana bulijjo okuwa ababasinga ekitiibwa.

Muteesa agamba nti abazadde balina ettofaali ddene ku bulamu bw’abaana babwe bwatyo nabasaba bulijjo okubalambika obulungi,  obuvunaanyizibwa baleme kubulekera basomesa.

Akulembeddemu abakiise embuga era omwami wa Kabaka owa Mutuba III Makindye Kibuga Hajji Musa Ssemambo  Musoke akunze abantu ba Kabaka  bulijjo okufaayo okutuukiriza  ennono zaabwe  okunnyweza Nnamulondo

Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu asabye abazadde okwongera amaanyi mu nkuza y’ abaana nga babagolola okufuuka abantu abalimu ensa kyagambye nti kyandiyambako okukendeeza ebikolwa ebyetima ebisuse mu bantu.

Mu bakiise embuga mubaddemu  abatongole ba Kabaka , Abaami ab’emiruka , abakulembeze n’abaweereza ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka ne Gavumenti eyawakati kwossa nabaana bamasomero.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top