Amawulire

Omuliro gusanyizaawo bya bukadde.

 

Poliisi y’e Lwengo etandiise okunoonyereza ku muliro ogwalese ebintu bya bukadde nga bisanyiziddwawo.

Omuliro gwabaddewo olunnaku olwaleero nga 28, September, 2023 mu Galagi y’ebidduka.

Galagi ya Conner City ku kyalo Kataali mu Tawuni Kanso y’e Kinoni mu disitulikiti y’e Luweero yakutte omuliro ku Lwokuna mu kiro ku ssaawa nga 9 ez’ekiro era gwasanyizaawo ebintu bya bukadde.

Ebintu ebyayidde kuliko emmotoka eziri mu 10, Pikipiki 5, sipeeya w’ebidduka n’ebintu ebirala.

Omu ku bakozi God Kalangwa agamba nti yabadde yeebase, okudda engulu nga Galagi yonna ekutte omuliro.

Ate Nicholas Ssebwana nga naye mukozi ku Galagi, agamba nti Poliisi okulwawo okutuuka, y’emu ku nsonga lwaki ebintu byonna byasanyeewo.

Asabye Poliisi okunoonyereza, okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro.

Ssentebe w’ekyalo Kataali, Sande Kalanzi naye awanjagidde Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza, okuzuula ekituufu.

Abamu ku batuuze bagamba nti embeera eyinza okuba yavudde ku masanyalaze.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top