Amawulire

Omusajja akwatiddwa n’ebitundu by’omuntu.

 

Ku kyalo Kisimu mu ggoombolola y’e Nabweru e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso, omusajja ali myaka 45 akwatiddwa ku bigambibwa y’omu ku basawo b’ekinnansi abafere abali mu kitundu ekyo.

Sirajje Kayizzi nga musawo wa kinnansi yakwatiddwa era asangiddwa n’ebintu eby’enjawulo.

Kigambibwa oluvanyuma lw’ebikolobero okweyongera mu kitundu ekyo, omuli n’okusaddaka abaana, ettemu ne batwala ebitundu by’abantu omuli ebitundu by’ekyama, kiwaliriza abakulu mu kibiina ekitwala abasawo b’ekinnansi, ekya Uganda ne ddagala lyayo, okukola ekikwekweeto eri abasawo b’ekinnansi bonna.

Mu kikwekweeto, omusajja Sirajje mwe bamukwatidde.

– Asangiddwa n’akawanga k’omuntu nga kali mu nsuwa

– Amaliba g’ensolo ez’enjawulo omuli empologoma.

– Amannyo agatamanyiddwa gaaki ssaako

– N’ebintu eby’enjawulo ebikaanga omuntu yenna agenze mu ssabo okufuna obujanjabi.

Abadde asawulira mu nnyumba era bw’abuuziddwa ebikwata kawanga k’omuntu, agambye nti naye abadde tamanyi nti akalina kuba ebintu yasikira bisikire.

Kigambibwa y’omu ku bafere abaludde nga benyigira mu kufera abantu, ekitabudde abatuuze.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top