Amawulire

Omusajja asazeeko mukazi we omutwe n’agusuula ew’omusiguze.

 

Poliisi y’e Namisindwa eggalidde omusajja Vincent Bwayo 27, agambibwa okutemako mukazi we omutwe, n’amala n’agusuula ku mulyango gwa musajja munne gwabadde ateebereza okumwagalira omukazi.
Bwayo nga mutuuze ku kyalo Watoko, mu muluka gw’e Butingu mu ggombolola y’e Bumali e Namisindwa, agambibwa okuba nga yatemyeko mukazi we Justine Wachemba 23, omutwe nga amulumiriza okubaligira mu bufumbo.
Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwomukaaga nga September 15, 2023.
Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Namisindwa, Julie Namara yagambye nti Bwayo yatemyeko Wachemba omutwe, ku lutindo lw’omugga Saala, bwe yabadde amukunguzza nga amutwala ew’omusajja gwabadde alumiriza okumuganza.
Bwayo olwamaze okutta mukazi we, omutwe yagututte bukolokolo ku mulyango gwa James Musoba ng’ono gwalumiriza okuganza mukazi we.
Bwe yamaze okumusuulira omutwe, yeetutte butereevu ku poliisi ne yeeroopa ku poliisi ye Namisindwa.
Omulambo gwa Wachemba gwatwaliddwa mu ggwanika e Mbale ng’okunoonyereza bwe kugenda maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top