Amawulire

Omusango gwa Minisita Lugoloobi teguwuliddwa.

 

Okuwulira omusango ku mabaati agalina okuweebwa abaKaramoja oguvunaanibwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi kulemereddwa okutandika oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza Kkooti nti si beetegefu kugenda mu maaso na nsonga eno olwaleero.

Kino kyaleetedde omulamuzi Margaret Tibulya okwongezaayo omusango guno okutuusa wiiki ejja nga October 25th ne 26th 2023 ng’abajulizi musanvu ab’oludda oluwaabi basuubirwa.

Omuyambi wa DPP Josephine Namatovu akakasizza mu Kkooti nti agenda kuba mwetegefu okugenda mu maaso n’okuwulira omusango guno ku nnaku ezoogeddwako.

Minisita Lugoloobi abaddewo mu Kkooti ne Munnamateeka we John Isabirye naye eyategeezezza kkooti nti mwetegefu okuwolereza omuntu we.

Minisita Lugoloobi avunaanibwa okufuna amabaati 400 okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita agaali galina okuweebwa abawejere e Karamoja.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top