Amawulire

Omusango Gweyattibwa Mu 2015 Gutandise Okuwulirwa Mu Kooti E Mukono

Omusango Gweyattibwa Mu 2015 Gutandise Okuwulirwa Mu Kooti E Mukono

KOOTI enkulu e Mukono etandise okuwulira omusango gw’obutemu oguvunanibwa Mathew kirabo, agambibwa okutta muganzi we Disire Mirembe wakati mu miranga n’okwazirana okuva mubenganda za Desire Mirembe ababadde beyiye mu kooti, Oluvannyuma lw’emyaka 5 nga attiddwa, ono yattibwa mu July 2015.

Okusinziira ku ludda oluwaabi, kigambibwa nti Mirembe yattibwa eyali muganzi we Mathew Kirabo bwe bali basoma obusawo ku Ssetendekero wa Makerere.

Mirembe eyamutta, kigambibwa nti yakozesa akambe akozesebwa abasawo okulongoosa, okusobola okumusala omumiro, ekyamuviirako okufa.

Musoke Emmanuel  Ono nga taata wa Mirembe era nga yeyasoose okuwa kooti obujulizi yagambye nti mu kiseera muwala we  weyattirwa, basooka kusisinkana ne Kirabo ku kifo ekiyitibwa  Phanero gye yali akuba ennanga.  Ono wakati mu kuwa obujuluzi, Musoke yatulise n’akaaba ekintu ekyawalirizza abenganda bonna ababadde mu kooti okumwegattako ne bakuba ebiwoobe n’okwazirana,  omulamuzi wa kooti eno Henry Kaweesa embeera bwe yamuyitiriddeko, kwe kulagira kkoti okuwumula eddakiika 10.

Musoke yagabye omulamuzi nti, Kirabo bwe yakwatibwa yakiriza okutta Mirembe era n’agamba  nti yali tasobola kukiriza muntu gwayagala bwatyo kutwalibwa muntu mulala kumuwasa.

Kirabo yasooka kusimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’e Jinja n’amusindika ku alimanda, wabula oluvannyuma yakirizibwa okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti nga 24-November-2016.

Omusango gwakyuusibwa ne gguzibwa e Mukono ku biragiro bye yali Principal Judge Yorokamu Bamwine mu kaseera ako, olw’eyali omuwabi wa gavumenti ekiseera ekyo okwemulugunya nti omusango guno ggwazibwa mu bitundu bye Buyikwe, nga gulina kuwulibwa mu kooti enkulu e mukono sso ssi Jinja nga bwe kyasooka.

Omulambo ggwa Mirembe gwasangibwa omwana omulenzi mu ssamba ly’ebikajjo e Lugazi mu Disitulikiti y’e Buikwe, kyokka mu mwezi gw’okutaano mu mwaka guno 2021, Munnamateeka wa Kirabo Isaac Kato yateekayo okusaba kw’omuntu we mu Kkooti Enkulu nga agisaba ewe omuntu we Ppaasipooti ye eyali yamugyibwako Kkooti nga yeyimirirwa mu 2016, ng’ayagala okugenda mu gwanga lya  Amerika okusobola okweyomgerayo okusoma.

Kkooti bwe yamubuuza abuuza wa Kirabo gyali, yategeeza yagitegeeza nga bwatasobola  kubaawo mu Kkooti.

Isiah Mbuga ono nga Musumba wa kanisa za Christs Heart,  y’omu ku bawade obujulizi eri omulamuzi, ono ategezezza kooti ng’omugenzi Mirembe bwe yali memba mu kanisa ye,  era yagambye nti lumu omugenzi yagenda mu ofiisi ye ng’amulajanira ebizibu bye yali ayitamu n’omwagalwa we Kirabo okuli okumukaka okwambala obuweta bwa kizala gumba(IUD) ne bintu ebirala bingi, era mu kiseera ekyo yali ayagala kuwebwa Magezi engeri gyayinza okumwesonyiwamu n’ensonga z’omukwano gwabwe zali tebigenda bulungi mu maaso.

Puliida wa Matthew Kirabo,  Ono nga ye Dalton Aponyo yategezezza nga omusango bwe gutandise obulungi wabula obujulizi obuwereddwa ku muntu we tabutidde era mwetegefu obunjungulula ekiseera nga kituuse.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top