Amawulire

Omuserikale ayongedde okulumiriza Ssegirinya ku by’okukuma mu bantu omuliro.

Omuserikale wa poliisi azze mu kkooti n’awa obujulizi ku mubaka Muhammad Ssegirinya nti yateeka akatambi ku kibanja kye ekya Facebook okukuma omuliro mu bantu beekalakaase olwa BobiWine.

Det ASP Bill Ndamuhaki yabadde mujulizi waakubiri mu musango gavumenti mw’egambira nti Ssegirinya yeekwata akatambi n’akateeka ku kibanja kye ekya Face Book ekya “Ssegirinya Fans Page” ng’alabula nti ssinga gavumenti ekwata ku Bobi n’emukolako akabi konna, embeera egenda okutuukawo mu Uganda egenda kusinga emirundi 40 ekitta bantu ekyali e Rwanda mu 1994.

Yagambye nti ekigendererwa kya Ssegirinya kyali kyakukuma muliro mu bantu beekalakaase naye ekirungi tewali yeekalakaasa. 

Bino abitegeezezza omulamuzi Siena Owomugisha ku kkooti ya Buganda Road era Ssegirinya abaddewo nnyo mu kkooti ng’agoberera ebigenda mu maaso. 

Abadde awolerezebwa balooya babiri okuli Geofrey Turyamusiima ne Zefania Zzimbe abalaze omulamuzi amateeka Ndabamuhaki ge yamenya ng’anoonyereza ku musango guno omuli obutasooka kufuna lukusa okuva mu kkooti ng’akebera ebikwata ku ‘Facebook page’ ya Ssegirinya. 

Omusango guno kigambibwa nti Ssegirinya yaguzza nga August 31, 2022 naye agwegaana. Guddamu nga February 10, 2023. 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top