Amawulire

Omusirikale akubye banne 3 amasasi.

 

Wabaddewo obunkenke mu kitundu ekimanyiddwa nga mu Kinyarwanda mu  Akright estate Kajjansi town council mu Wakiso,  amasasi gamyoose okumala akaseera omusirikale bwavudde mu mbeera n’asasira banne 3 amasasi omu gamuttiddewo.

Kigambibwa nti abasirikale bano basoose kuyombamu bwebabadde banywa omwenge mu bbaala, omu kwekugenda mu maka g’abadde akuuma naleeta emmundu n’abasasira amasasi.

Bw’amaze okubakuba n’agenda ng’asasira amasasi mu bbanga okugumbulula abantu ababadde batandise okukungaana okulaba ogubadde.

Poliisi ye Kajjansi eyitiddwa mu kiro omulambo neegugyawo, n’abalala abakubiddwa amasasi nebatwalibwa mu ddwaliro okufuna obujanjabi.

Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti bakyanoonyereza n’oluvannyuma bafulumye alipoota.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top