Amawulire

Omusirikale akwatiddwa lubona ng’asobya ku mwana.

Poliisi egamba nti omusirikale waabwe Thomas Otim myaka 49 eyakwatiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana myezi 21, bamutwala mu kkooti ng’omuntu wa buligyo.

Thomas Otim abadde Inspector of Police agobeddwa mu kitongole ekya Poliisi, olwa lipoota z’abasawo, okuzuula nti ddala omwana yamusobyako.

Okunoonyereza kulaga nga 9, October, 2023, Otim yatwala omwana mu offiisi ye ku kitebe kya Poliisi ekya Arua, namusobyako.

Nnyina w’omwana Nasiima Rachael agamba nti ku lunnaku olwo’ Otim yakomawo mu Balakisi ya Poliisi nga buligyo, kwe kuyita omwana, okumutwala mu offiisi ye nga buligyo.

Agamba nti Otim, abadde neyiba we okumala emyaka 7 era abadde mukwano gwa baana nnyo.

Nasiima agamba nti mu kutwala omwana, wayita eddakika 2-3, omwana yakuba emiranga kwe kusindikayo mukulu we, okwekeneenya embeera.

Otim olwategeera nti bamutegedde ng’omwana ali maziga, yamutwala ku dduka namuwa sooda, wabula omwana yasigala akaaba era nnyina okumwekebejja nga yenna akulukusa musaayi mu bitundu by’ekyama.

Ku Poliisi Arua, Otim yabadde akulira okwasiza empisa mu basirikale.

Wabula Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti Otim agobeddwa mu kitongole kya Poliisi era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top