Amawulire

Omusirikale asobezza ku mukyala omusibe ekiro kiramba

Poliisi y’e Kiira e Jinja eri mu kunoonya omusirikale aliira ku nsiko mu kiseera kino ku misango gy’okusobya ku mukyala omusibe.
Police Constable Salim Mugoya ku Poliisi y’e Namaganga yanoonyezebwa ku by’okusobya ku musibe omukyala myaka 20 (amannya gasirikiddwa).
Okunoonyereza kulaga nti omukyala yali akwatiddwa ku misango gy’okusuulira bba omwana omuto myaka 2.
Bba w’omukyala yatwala omusango ku Poliisi y’e Namaganga nga 4th, February 2024, ekyavaako omusirikale Mugoya okukwata omukyala.
Omukyala yamala ku Poliisi ennaku 2 okuli 7, ne 8, February, 2024.
Oluvanyuma lw’omukyala ne bba okugonjoola ensonga ku Poliisi, omukyala yayimbuddwa.
Oluvanyuma lw’omukyala okudda awaka, yasobodde okutegeeza bba nti omusirikale Mugoya yamusobezaako mu kiro, bwe yamusibidde mu kkomera ly’abakyala.
Abasirikale okuva ku Poliisi e Kakira, baasobodde okutwala omukyala mu ddwaaliro lya Busedde Health Center IV okwekebejjebwa.
James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agamba nti omusirikale aliira ku nsiko era anoonyezebwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Mubi agamba nti balina okulwanyisa abantu nga Mugoya, abali mu kusiiga ekitongole kya Poliisi enziro.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top