Amawulire

OMUSIRIKALE EYAKUBYE OMWAANA AMASASI MU KAAFIYU GAMUMYUSE

Abatuuze ku ku kyalo Namunasa mu ggombolola y’e Mazimasa mu disitulikiti y’e Butaleja balumbye ofiisi ya RDC Stanley Bayole nga baagala okufuna obwenkanya era akangavvule omuserikale wa poliisi eyakubye omwaana Naula Esther 13 asoma P5 ku Namunasa P/S bwe yabadde ava mu maduuka e Kachonga okugula ebintu taata we bye yabadde amutumye. Abatuuze bagamba nti baagala omuserikale oyo eyasse omwaana aleetebwe ku kyalo bamusalire omusango mu lujjude, era bamulumiriza okuba nga yabadde atamidde.

Kigambibwa nti essaawa za kaafiyu zatuuse ng’omugenzi adda waka wabula omupoliisi ono banne olwafuuye firimbi abantu bangi badduse kyokka ye yatandise kukuba masasi mu bantu ne gakwata omwana ono Naula n’afiirawo ate omulala Abdurashid Walujo yafunye ebisago eby’amaanyi naddusibwa mu ddwaaliro e Mbale.

Omwogezi wa poliisi mu Bukedi South Moses Mugwe yakakasizza enjega eno era yategeezezza nti omuserikale waabwe eyakoze ettemu lino yamaze dda okukwaatibwa nga wa kusimbibwa mu kkooti avunaanibwe okutta mu bugenderevu ng’akozesa emmundu n’okutuusa ebiwundu ku mutuuze ssaako okukola emirimu ng’atamidde. Abatuuze abaagenze ewa RDC Stanley Bayole bategeezezza nti omuserikale yasiibye mu bbaala ng’anywa ate nga zaggalwa.

RDC yabagumizza era yabagambye nti ensonga zino bagenda kuzikwata na mukono gwa kyuma okulaba nga bafuna obwenkanya era yavumiridde ebikolwa ebibi nga bino. Tom Wairagala ono ye taata w’omugenzi yagambye nti ayagala gavumenti emuliyirire kubanga kino ekyakoleddwa omuserikale okutta muwalawe ate nga yeerina okumukuuma.

Abatuuze bavumiridde ebikolwa bya poliisi ng’ekwasisa kaafiyu era ne beemulugunya ku ngeri gye bataputa ekifuulannenge ebiragiro bya pulezidenti Museveni ku kulwanyisa Corona.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top