Amawulire

Omusirikale wa police yekubye amasasi agamuttiddewo.

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo Kitiyo Alex No.1037 agambibwa okuba nti yekubye amasasi agamuttiddewo.

Omusirikale Kitiyo myaka 47 abadde akolera ku police ye Makokoto mu gombolola ye Makokoto mu district ye Kassanda.

Kityo asoose kusasira masasi ku nnyumba ya mukama we OC w’e Makokoto Kakooza John, naye oluvannyuma neyetta.

Omwogezi wa police mu kitundu ekyo Racheal Kawala agambye nti bino byonna bibaddewo  ku ssaawa nga kkumi neemu eyookumakya nga busaasaana.

Kityo agenze ku nnyumba ya OC Kakooza Alex n’atandika okugisasira amasasi nga talina kigambo kyonna kyanyega, kigambibwa nti ayinza okuba alowoozezza nti amusse, naye kwekuddayo mu nju ye neyekuba amasasi agamusse.

Kawala awadde.amagezi abantu abalina okusomoozebwa okutegezaako abantu abalala, mu kifo ky’okwetta n’okutta abalala.

Ettemu ly’emmundu likyaase nnyo omwezi guno , olw’abakuuma ddembe abazze begya mu budde n’Okutemula bannansi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top