Amawulire

Omutaka Ggunju alabudde abatunda emmaali y’abafu gyebalesse.

Omutaka Ggunju Matia Kawere akulira ekika ky’Obutiko alabudde abasika abagufudde omugano okutunda emmaali y’abantu be babeera basikidde ekiviiriddeko bamulekwa ne bannamwandu okugobwa ku ttaka n’okusigala nga babundabunda. 

Bino Omutaka Ggunju yabyogeredde mu nsisinkano ne bazzukulu be abeddira Obutiko abakung’aanidde ku butaka bwabwe e Bukalango mu kaweefube w’okunyweeza obumu mu kika n’okwekulaakulanya.

Omutaka yategeezezza ng’ensagi zino abasika bwe baweddemu ensa ng’olubeera okutuuzibwa ku busika ng’atandikirawo okutunda emmaali y’omugenzi ng’era batuuka n’okugobaganya bamulekwa ne bannamwandu n’abasaba okukikomya kubanga kye kivuddeko entalo mu bika.

Ono era yatongozza n’omukutu gwa Whats App ogw’ekika kino n’asaba abaguliko okugukozesa obulungi okuzimba ekika kyabwe.

Salafina Nabakawa yasiimye Ggunju okugamba nti basika n’abasika mu kifo ky’okutunda bye basanzeewo batandikewo pulojekiti ze nkulaakulana.

Ate Ali Katimbo akuliira SACC0 y’ekika kino asabye abantu abeddira Obutiko okubeera obumu mu byenkulaakulana n’abasaba okwettanira obwegassi.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top