Omutamiivu alidde matereke n’Abalokole ababuulira enjiri ku luguudo n’abateeka ku nninga bamulage olunyiriri olugaana omuntu okunywa omwenge .
Omukulu ono abadde yenyweredde omwenge gwe ng’akutte ne Bayibuli we w’asangidde Abalokole ku kkubo lya Muswayiri e Kawempe.
Asoose kubabuuza mwe baani , lwaki mubuzaabuza abantu, njagala mundage olunyiriri olugaana omuntu okunywa omwenge .
Oluvannyuma omutamiivu baamusabidde n’alangirira nga bw’alokose kyokka olwamuggyeko emikono asibidde mu bbaala oba abadde anywa akasembaayo, gwe nange .
