Amawulire

Omutemu akwatiddwa n’emirambo 10 mu fumbiro.

 

Poliisi mu ggwanga lya Rwanda ekutte omusajja ku misango gy’okusangibwa n’emirambo 10 mu fumbiro mu makaage mu kibuga Kigali.

Poliisi egamba nti omukwate myaka 34 era kigambibwa y’omu ku batemu abaludde nga banoonyezebwa ku misango gy’okutta abantu.

Kigambibwa abadde afuna abawala okuva mu bbaala, okubatwala mu kazigo mwabadde asula era oluvanyuma ne battibwa.

Okusinzira ku kitongole ekinoonyereza ku misango mu ggwanga lya Rwanda ki Rwanda Investigation Bureau (RIB), bakazuula emirambo 10 naye nga bakyanoonyereza.

Omwogezi wa RIB, Thierry Murangira agamba nti balina okuvaayo okutegeeza eggwanga omuwendo omutuufu, oluvanyuma lw’okunoonyereza.

Omukwate, yali akwatiddwa mu July, 2023 ku misango gy’obubbi n’okusobya ku bakyala wabula yayimbulwa kakalu ka kkooti nga tewali bujjulizi.

Poliisi okwongera okunoonyereza, y’emu ku nsonga lwaki bazzeemu okumukwata ssaako n’okuzuula ekinnya mu fumbiro mwabadde ateeka abantu abatiddwa.

Ku Poliisi, omukwate agamba nti okulaba firimu z’abatemu, y’emu ku nsonga lwaki abadde kafulu mu kutta ssaako n’okuteeka emirambo mu Asidi, okusanyawo obujjulizi.

Agamba nti abadde atta abakyala n’abasajja n’okusingira ddala abakyala abatunda omukwano.

Abadde abatwala awaka, okubasobyako, oluvanyuma ne battibwa okusobola okubba ebintu byabwe n’okusanyawo obujjulizi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top