Amawulire

Omutuuze asangiddwa nga afiiridde mu musiri gw’ennyaanya.

 

Abatuuze ku Kyalo Kisimbannyiriri mu muluka gw’e Lusango e Bukulula mu district y’eKalungu bagudde ku mulambo gwa munnabwe nga guli mu musiri gwe ogw’ennyaanya ezaabadde zi mufuddeko.

Omugenzi ye Nkalubo Deo myaka 53, nga kigambibwa nti ebirowoozo byandiba nga byebyamuviiriddeko okufa, olw’omusiri gwe ogw’ennyaanya oguweza yiika okufa so ng’ensimbi z’okulima yali yewola nnewole.

Ssentebe w’ekyalo Wasswa yosam Lule agambye nti Nkalubo abadde amaze ennaku 3 nga talabikako, okutuusa lwebagudde ku mulambogwe nga gugangaamye mu nnimiro.

Poliisi okuva e Lusango eyitiddwa n’eggyayo omulambo mu nnimiro, n’okwongera okunoonyereza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top