Amawulire

OMUVUZI WA TTAKISI E KASESE ASIBYE 2500/= N’AWANGULA OBUKADDE 189

olunaku lwennawangudde ssente zino lwennasembye okuvuga ttakisi ya mukamawange kubanga ng’enda kufuuka bboosi,” bw’atyo omuwanguzi w’obukadde 189 bweyatandise emboozi ng’awayaamu naffe oluvanyuma lw’okumukwasa kavu.

Okufaananako n’eyawangula obukadde 121 okuva e Lira, omuwanguzi ono naye yasibye ku ova za ggoolo 2 era nekimukolera.

Ku lisiiti ye nnamba 3127124680669999, omuwanguzi yaitaddeko emipiira 34 nga girimu odi ntono-tono wabula negimuwa odi ey’awamu ennene.

Ng’akwasibwa ssente ze ku kitebe kya Fortebet e Kololo, omuwanguzi essanyu lyamuyitiriddeko. “Ndimusanyufu bya nsusso kubanga ssikwatangako ku ssente nga zino,” omuwanguzi (amanya gasirikiddwa) bweyategeezezza.

Yagasseeko nti, “Ng’enda kugula ttakis eyange, okugulako ettaka, okuzimbako wamu n’okusomesa abaana bange.”

Ssente zino zaamukwasidwa ambasada wa Fortebet, Alex Muhangi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top