Amawulire

Omuwala asangiddwa mu loogi e Kawempe nga muffu!

 

Omuwala atanamanyika bimukwatako asaangiddwa ng’afiiridde mu loogi, mu Lufula Zone Kawempe Zone mu Kampala.

Ssentebe w’ekitundu Ssimbwa William agambye nti okusinziira ku mbeera esangiddwamu omulambo, omuwala yandiba nga yasoose kukozesebwa nebamutuga.

Ssentebe agambye nti ono omuwala wakusatu okusangibwa ng’afiiridde mu mbeera y’emu mu kitundu kye

Anenyezza abaddukanya zi loogi okusuulirira obuvunanyizibwa bwabwe obw’okuwandiisa abantu bonna abagendayo.

Poliisi okuva e Kawempe eyitiddwa neggyayo omulambo, nga bwegenda mu maaso n’okubuuliriza.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top