Entiisa ebuutikidde abatuuze ba Bruno zzooni mu munisipaali y’e Makindye bwe basanze omulambo gwa Adam Rukundo omuyizi abadde asoma amateeka ku KIU mu mwaka gwe ogusembayo nga guli mu kitaba ky’omusaayi mu nnyumba mw’abadde asula.
Omulambo gwa Rukundo gwasangiddwa wansi w’ekitanda ku Mmande nga guli mu kitaba ky’omusaayi kumakya mikwano gye bwe baabadde bagenze gy’asula okumulabako. Bano baasanze oluggyi nga luggule nga ne mu nnyumba muvaamu ekivundu.
Hillary Baluku abadde asoma naye yagambye nti baasemba okumulabako ku Lwokuna emisana nga yabategezaako nti waakuyitirako mu bifo ebicakalirwamu okulaba ku mupiira oluvannyuma agende gy’asula.
Agamba nti babadde tebanaddamu kumulabako okutuusa lwe baakakasizza okufa kwe ku Mmande omulambo gwe lwe gwasangiddwa nga guli mu kitaba ky’omusaayi okumpi n’ekitanda kw’asula.
Joseph Katongole, ssentebe wa LC I, Bruno zzooni omugenzi gy’abadde asula agamba nti Rukundo abadde asula ku mizigo gya Ssenga we, Barbra Kembabazi nga yazirekamu abapangisa era y’abadde azirabirira nga yamuwaako akazigo akamu k’abadde asulamu.
Yategeezezza nti ebiseera ebisinga abadde agenda mu bibanda by’omupiira ne mu bbaala okunywa ku mwenge era kigambibwa nti kw’olwo lwe yafa yali atambuddemu ekiro nga mu nnyumba yakomawo kiro.
Katongole yategeezezza nti baamaze kuwulira ekivundu kya manyi okumpi n’emizigo gino w ebatandiikidde okwagala okunoonyereza era eggulo baakubidde poliisi n ebayingira mu muzigo gwe ne basanga nga mujjudde omusaayi nga agudde wansi ng’alabika amaze ebbanga nga yafiira munda.