Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku ngeri omuyizi wa Siniya ey’okuna ku ssomero lya Luzira Senior Secondary School mu Kampala gyeyakubyemu Asikaali ku ssomero lino ekikonde ekyamusse eggulo ku Lwokubiri.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Luke Owoyesigire agamba nti omuyizi ye Duncan Byambala nga wa Siniya ey’okuna ate omugenzi ye Goeffrey Mugerwa ow’emyaka 22 nga bano bafunye obutakkaanya.
“Kigambibwa nti bano bafunye obutakkanya ku ssaawa nga 5 ez’okumakya nga abaana bafuluma mu ggeeti webatandikidde okwesikasika. Wano Byambala yakubye Mugerwa ekikonde nazirika. Bamuyoddeyodde nebamuddusa mu ddwaliro lya St. Steven abasawo gyebakakasirizza nti yabadde afudde,” Owoyesigire bw’annyonnyodde.
Owoyesigire agamba nti poliisi yatuuuseewo mu bwangu netandika okunoonyereza ku nsonga eno era omulambo gwatwalidwa mu ggwanika e Mulago okwogera okwekebejjebwa.
Ono agasseeko bamaze dda okuggya sitatimenti ku bayizi ababaddewo nga bino bibaawo wabula nga ye omuyizi Byambala aliira ku nsiko .