Poliisi y’e Oyam eri mu kunoonya omwana omuwala myaka 14 ku misango gy’okutta kitaawe Emmanuel Otim.
Kigambibwa ku Mmande ekiro, omwana yafumise kitaawe akambe ku kisambi era yavuddemu omusaayi okutuusa okufa.
Otim abadde mutuuze ku kyalo Ajaya mu ggoombolola y’e Loro mu disitulikiti y’e Oyam.
Okunoonyereza kulaga nti Otim ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya era ku Mmande ekiro, Otim yakomyewo nga yenna atamidde.
Okutuuka mu kisenge, nga mukyala we yeebase ne muwala waabwe ku kitanda kyabwe.
Embeera eyo, yavuddeko okulwanagana era omwana wakati mu kutaasa nnyina, yakutte akambe nafumita kitaawe mu kisambi, eyavuddemu omusaayi okutuusa okufa.
Anthony Ongom, abadde Landiloodi wa Otim agamba nti omugenzi yabadde agezaako okuddukira mu ddwaaliro wabula yafiiridde mu luggya.
Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya North Kyoga, agamba nti okuva ku Mmande omwana aliira ku nsiko wabula bakola kyonna ekisoboka okukwatibwa ku misango gy’okutta omuntu.