Amawulire

Omwana w’omujaasi atiddwa , omulambo ne bagusuula mu kkubo .

Gibadde miranga na kwaziirana mu batuuze n’abenganda ku kyalo ky’e Namaliga North abatemu bwe basse omwana womujaasi wa UPDF akolera e Mbuya .

Ettemu lino likoleddwa mu kiro ekikeseeza leero oluvannyuma lw’abantu abatannategerekeka okutta Sharif Aclomati 16  bw’abadde agenda gy’asula ne bamutemaatema ebiso .

Bazadde bomugenzi okuli Janet Kalungi ne taata Paul Ojambo wamu n’abatuuze bwe bafunye amawulire ag’okufa kw’omuntu waabwe amaziga ne gabayitamu nga bagamba nti  basse wa bwereere kuba abadde talina buzibu bwonna.

Abatuuze bagamba nti omuvubuka ono maama we abadde nga amugaana okutambula ekiro kyokka nga tawulira.

Kkansala w’ekitundu kino, Siragye Kato Ahmed agambye nti tewali amanyi ekigendererwa ky’abatemu bano kuba engeri gye bassemu omuvubuka yabadde ya bukambwe  n’asaba abatuuze okubeera abeegendereza ku bulamu bwabwe.

Atwala poliisi y’e Bombo, Annet Tusiime anenyezza nnyo abatuuze okusaalimbira awali omulambo kuba baleese embwa naye telina ky’ekoze olw’abatuuze okutatagaanya obujulizi era n’abalabula obutakiddamu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top