Amawulire

Owa LDU abadde agenze okuwuga abbidde mu kidiba n’afiiramu.

Franco Magambo, abadde atemera mu gy’obukulu nga 40 owa LDU, nga mutuuze ku Kyalo Kabundi ekisangibwa mu ggombolola y’e Mateete Rural yafiiride mu mazzi oluvannyuma lw’okugenda okuwuga wabula n’alemererwa okuvaayo.

Zaabadde ssaawa nga 11:00 n’kkirira ku luzzi n’asangayo omwana n’amutegeeza nga bw’agenda okuwuga wabula omwana yakomye ku kumulaba ng’abbira mu mazzi era nga tavaayo kwe kugenda n’ategeeza ku batuuze era baasanze Magambo yafiiridde dda mu mazzi.

Abatuuze basuzeewo era we tutuukiddewo nga omulambo gulabise wabula nga gukyali mumazzi nga balinda poliisi n’omusawo okujja okubakkiriza okuguggyayo n’okugwekebejja.

Sula Kakooza, ye yabaddewo nga omugenzi agwa mu mazzi era annyonnyodde n’ategeeza nti yamusanze ku luzzi ne yeeyambula engoye ne ssente n’abimukwasa olwo n’ayingira oluzzi okuwuga.

Mukyala w’omugenzi, Promise Kamusiime ategeezezza bba yamulese waka n’agenda okulima kyokka bwe yakomyewo okubuuza abaana taata waabwe gy’ali ne bamutegeeza nga bwe yagenze e Kabundi.

Wabula, zaabadde ziwera ssaawa nga 10:00 ez’olweggu;o omwana n’ajja okumubikira nti yagudde mu luzzi n’afa. Kizza Magwaya abadde ayita omugenzi kitaawe omuto agambye nti yafunye amawulire ku ssaawa 11:00 baasuze ku luzzi mpaka kumakya we baaletede balubbira okuzuula omulambo.

Akulira poliisi y’e Sembabule, David Wills akakasizza ensonga eno n’agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso ku nsonga eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top