Bananayuganda baasabiddwa okwettanira obulimi n’obulunzi kibayambe okulaakulana n’okwegobako obwavu naddala nga balima emmwaanyi n’okuziriikiriza.
Okusaba kuno kukoleddwa Minisita omubeezi Ow’ebyobulimi, Ow’ obusuubuzi n’Obweggasi mu Buganda, Owek. Hajji Amis Kakomo bweyabadde atikkula amakula okuva mu Bannakyaggwe ne Bulemeezi mu Lubiri e Mmengo ku Mmande.
Minisita Kakomo yategeezezza nti ekiseera kituuse obulimi n’obulunzi abantu babitwale ng’emirimu gy’obuvunaanyizibwa era bagwenyigiremu era beegatte okusobola okulaakulanira awamu nga benyigira mu nteekateeka ez’enjawulo Buganda zereeta.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omukungu Moses Luutu, yasabye abazadde okwongera amaanyi mu kugunjula abaana ab’obuwala ekyokuyambako okukendeeza ku mpisa ezisebengeredde kwossa nenyambala etasaanidde mu baana.
Abàami b’eggombolola bayanjudde alipoota omuli ebibasoomoza nebituukiddwako era nebawera okusigala nga batwala emirimu egyabakwasibwa mu maaso.
Abaleese Amakula mulimu eggombolola ya Mutuba VII Kawolo okuva e kyaggwe ne Mumyuka Nsege Butuntumula era mubireeteddwa mulimu emmere, ebisolo , ebibalala nebintu ebirala.