Abayizi mu masomero ag’enjawulo basabiddwa okwekuuma ennyo ekirwadde ki Mukenenya ekisimbye ennyo amakanda mu bavubuka ensangi zino basobole okukuuma Obwakabaka.
Okusaba kuno kukoleddwa Omukiise w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Rashid Lukwago bweyabadde yeetabye ku mukolo bannankobazambogo ku ssomero lya Kasule Memorial College e Wakiso kwebakyusiriza obukulembeze.
Owek. Lukwago yategeezezza abayizi bano nti bebayimiriddeko Buganda ey’enkya nga basaanye okutwala ensonga z’obulamu bwabwe nga nkulu nnyo okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Ono yabakuutidde okukozesa obulungi ekibiina kya Nkobazambogo nga bakola emikwano emirungi eginaabayamba mu biseera byabwe eby’omumaaso.
Ye Omukwanaganya wa Nkobazambogo muggwanga lyonna, Lubyayi Ibrahim Adrian yategeezeza nga okukyusa obukulembeze mu mirembe bwekiwa omukisa abalala nabo okuwereza eggwanga lyabwe era bw’atyo n’asaba bannazambogo bulijjo okutambulira mu kkubo lino.
Ssentebe w’eggombolola ye Kakiri, Jackson Tebandeke ssentebe yakubiriza abayizi okufaayo ennyo nga basoma ebitabo kubanga eno y’engeri yokka mwebayinza okuyita okulaba nga baza buganda ku ntikko.
Ye ssentebe avuddeko Sitalon Mulunga yasabye abalondeddwa okukola obuteebalira nga bawereeza kabaka waabwe n’abasaba obutakulembeza ssente
Ku mukolo guno bannazambogo basanyusiza abagenyi baabwe nga bayita mu kutontoma n’okubibyamu.
Oluvanyuma abakulembeze abagya bakubye ebirayiro nebakwasiibwa ebiwandiiko ebikakasa obukulembeze bwabwe wamu ne yafeesi mwebagenda okutandika okuwerereza.