Amawulire

Owek. Mayiga akutidde abantu okwettanira okuwandiisa kampuni.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okukomya okulowooza nti okuwandiisa kampuni, ebintu, obufumbo n’ebirala byabagagga, bazungu nabasoma bokka.

Katikkiro okwogera bino abadde asisinkanye abekitongole ekiwandiisa kampuni ki Uganda Registration Services Bureau (URSB) .

“Bwoba towandisizza kampuni, kampuni eyo tesobola kukola. Bizineensi ekula eteekwa okumanyibwa nolwekyo mugende mu Uganda Registration Bureau muwandiise bizineensi zammwe kubanga ly’ekkubo lyokka ery’omusuubuzi okudda ku ntikko, ” Kamalabyonna Mayiga bw’annyonnyodde.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga ekimu ku bintu ebisinga okwogerwako mu nsi ezikyakula nkulaakulana wabula eno esobola kuva mu byabusuubuzi singa bibeera bitereezeddwa nalaga obukulu bw’okuwandiisa amakampuni okulaakulanya Uganda.

Owek. Mayiga akuutidde abantu wonna mu ggwanga okunyweza obukulu bw’ebibalo  nga bawandiisa buli ekibakwatako okuva ku bufumbo okusobola okwanguyiza gavumenti omulimu gw’okuteekerateekera eggwanga.

Yeeyamye okwongera okuwuliziganya n’ekitongole kino batuuke ku ndagaano y’enkolagana basobole okuganyulwamu nga bakuuma obuwangwa n’ennono era nasiima Ssenkulu w’ekitongole ki URSB olw’okugezaako okumanyisa abantu obulungi bw’ekitongole kino.

Ye Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ategezezza nti obwakabaka buli mu kawefube wakukola bbago ku bintu byaayo gamba ng’olubugo olwagala okutwalibwa baannakigwanyizi, Enyimba, Ebivuga n’ebirala.

Akulira ekitongole kino, Mercy Kainobwisho  agamba nti abantu bajumbidde nnyo okuwandiisa ebintu byabwe, kampuni, obufumbo nebirala.

Avunaanyizibwa ku nsonga z’okuwandiisa obufumbo, Charles Nsimbi mu kitongole kino nabalala balaze okusomoosebwa wekusinga okuva mu kuwandiisa kampuni naddala eziriko ekigambo Buganda kyokka bagamba nti waliwo ebikka ebyasobola okwewandiisa nebifune obubonero (symbols) ngabaagala nebirala bikole bityo.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu  Omumyuka we Owokubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika, Minisita w’obuwangwa n’ennono Owek. David Kyewalabye Male, Omuk. Remmy Kisakye Ssenkulu wa Majestic Brands n’abalala.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top