Amawulire

Owek. Mayiga asabye ab’e Sweden okubaako byebazza ku butaka

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda abawangaalira e Sweden okubaako byebazza ku butaka gyebava basobole okulaakulanyayo.

Okusaba kuno Owek. Mayiga yakukoze asisinkanye bannayuganda ababeera e  Gothenburg,  mu Sweden mu kaweefube gw’aliko ow’okulambula abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuwanyisiganya ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo.

Mayiga yabajjukizza nti bonna balina amaka gye bava, n’olwekyo bafube okukoppa bye balaba babizze  gye bazaalwa, wakulaakulane.

Ono yabalaze nti ebikuza ensi tebiba binene. Wabula biba bintu bitono, kyokka ne bikolebwa bulungi. Akikkaatirizza nti Buganda teyinza kudda ku ntikko ssinga tetukola bulungi ebintu ebitono, kuba atasobola kukola bintu bitono,  n’ebinene tabisobola.

Owek. Mayiga yabategeezezza nti Gavumenti ya Kabaka ekubiriza abantu baayo naddala aba bulijjo, okukoka babeere bulungi,  basomese abaana; babeere n’emmere gye balya awamu n’okwejjanjabisa nga balwadde, awo badde ku ntikko ng’abantu ate ne Buganda yonna.

Ye Owek.  Joseph Kawuki, Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu,  nga yatambula ne Katikkiro,  yeebazizza nnyo Katikkiro, olw’okulambula abantu ba Kabaka yonna gye bali n’atuuka n’eyo abakulembeze abamu gye batya, ng’abakubiriza okwerwanako beekulaakulanye.

Ate omubaka wa Kabaka mu Scandinavia,  Owek.  Nelson Mugenyi,  yeebazizza nnyo abantu b’e Gothenburg olw’okujja okwaniriza Kamalabyonna.

Katikkiro yawereddwako: Owek.  Prosperous Nankindu Kavuma; Owek.  Joseph Kawuki; Owek.  Nelson Mugenyi; Owek.  Hasifah Nalweyiso; Omuk.  David Ntege; Omuk. Simon Kaboggoza; Omuk.  Michael Kawooya Mwebe ne Muky. Allen Namukasa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top