Amawulire

Owek. Mayiga asabye Nabulya okunyweza empisa

Katikkiro Charles Peter Mayiga, akuutidde Bannalulungi, okukuuma empisa ennungi n’okweyambisa endabika yaabwe okufuna emikisa emirala bongere okulaakulana.

Bino Owek. Mayiga abyogeredde mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda ne Uganda, Omuky. Sydney Nabulya Kavuma ne banne.

Owek. Mayiga agamba nti omuntu ne bw’aba mulungi nnyo naye nga talina mpisa, obulungi bwe bufa ttogge, era n’abasaba okukuuma obulungi bwabwe okuviira ddala mu mitima gyabwe, obwongo bwabwe era bakimanye nti empisa zezisobola okubakuumira waggulu.

Ono abakuutidde okusoma ebitabo n’ebiwandiiko okusobola okugatta kwebyo byebamanyi awamu n’okwekuumira ku mutindo nga bamanya ebipya ebibeera bireeteddwa ku katale.

Ye Ssentebe wa Bboodi ey’Ebyennono n’Obulambuzi, Omuk Benon Ntambi asiimye nnya bazadde ba Bannalulungi bano olw’okubateekateeka obulungi ate n’okubawagira mu nteekateeka eno gye balimu.

Ntambi ategeezezza nti bbo nga Bboodi, balina enteekateeka ey’okussaawo omukululo nga batuusa eby’obulambuzi ku muntu owaabulijjo, abantu bategeere amakula agali mu nsi yaabwe.

Ono yeebazizza Nabulya olw’okukiikirira Obwakabaka obulungi n’awangula mu Uganda yonna.

Yeebazizza nnyo Obwakabaka obwamuwa omwagaanya n’obuwagizi n’asobola okuwangula banne abalala okuva mu bitundu ebirala.

Asuubizza okudda n’engule mu mpaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu nsi yonna ezigenda okubeera e Malaysia.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top