Amawulire

Owek. Mayiga yabangudde abavubi n’abatuuze e Ssese ku Mukenenya.

Katikkiro Mayiga olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya alwongeddemu amaanyi,  ku  lw’okubiri yabangudde abavubi n’abatuuze ku mwalo gwe Kachanga ku ngeri gyebasobola okwekuuma, okulwanyisa wamu n’okwejjanjaba ekirwadde kino.

Owek. Mayiga abatuuze ku mwalo guno yabasabye basooka kwekebeza kirwadde bweba bakwetaba mu bikolwa eby’omukwano era bakomye okukebeza amaaso kuba omuwala oba omusajja asobola okulabika obulungi kyokka nabeera nga mulwadde.

“Muve ku baana abato mubaleke basome, abaana abato gano amabujje mugagazaaki? Olaba ne nnume tesobola kuwalampa nnyana etanasala, ggwe nogenda ku mwana omuto. Mutye siriimu kubanga atta ate ekirabo ekisinga byonna bulamu,” Owek. Mayiga bweyagambye.

Ono yasabye abavubuka okugenda bakeberwe era bwebakizuula nti balwadde bafeeyo okugenda ku ddagala era balye bulungi basobole okutwala obulamu bwabwe mu maaso. Owek. Mayiga bonna abaneetaba mu nsonga z’omukwano yabasabye okukozesa obupiira mu ngeri yeemu Abalunnyanja gyebakozesa ‘Life Jackets’ nga banaseeseeya ku mazzi.

Mayiga yabasabye balumirirwe omwana omuwala era bweba balina bebaagala okuganza balowooze ku bannyinabwe, bannyabwe awamu ne bawala babwe.

Abazuuliddwamu ekirwadde yabagaanye okwekubagiza naye basigalemu essuubi kuba obulamu buba tebuweddewo singa omuntu agoberera amagezi g’abasawo.

Kinajjukirwa nti Katikkiro Mayiga e Kalangala yagenze kwongera maanyi ku nteekateeka y’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya ku bizinga bye Ssese era yawerekeddwako baminisita n’ abakungu abenjawulo mu Bwakabaka ne gavumenti eyawakati.

Akiikiridde akulira eby’obulamu e Kalangala Sarah Subo yategeezezza nti ekizibu ekisinga okuba e Ssese kwekuba nti abantu batambula nnyo okuva wano okudda ewalala ate nga tebatambula nabakyala baabwe ekireetera obulwadde bwa Mukenenya okwegiriisa ngekigotta entula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top