Katikkiro Charles Peter Mayiga yasisinkanye abaami b’eggombolola z’Obwakabaka nga abasinga ku bbo bakyali baggya mu buweereza buno nabakuutira okunyweza obuyiiya n’obwerufu basobole okuzza Buganda ku ntikko.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga yabuwadde aggalawo omusomo gw’ Abaami b’amagombolola ogubeerawo buli mwaka ku Lwokubiri, nga ku luno guyindidde mu Bulange e Mmengo.
“Bwobeera omuyiiya tosobeera byekwaso, ekbikusomooza obitemera empenda kubanga oli muyiiya, olina okuba omunyikivu ng’ojjukira nti Ssemutego tegulwala mugongo nga kyebagutuma tekinagukwasa. Tetusobola kubeerawo nga twesaasira, tukooye emirimu gikooya era olaba okoze emirimu gyo nga tokooye omanya obulamu,” Katikkiro Mayiga bweyagambye.
Yabasabye buli kimu bakikolere mu musana kuba obuweereza bwebalimu bwa Kabaka nga buli kimu kirina kubeera mu musana ng’ensi yonna era singa bakolera mu kwagala kijja kubayamba obutalaba mirimu nga mugugu.
Owek. Mayiga yeebazizza olw’okutandikira emirimu mu maanyi nga kino kyeyolekedde mu nteekateeka ya Emmwaanyi Terimba n’Oluwalo awamu n’Amakula ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era yaguddewo omusomo guno ogw’eggombolola eziwera 174, yabategeezezza nti ekitibwa kya Buganda kirabikira mu mirimu gyabwe gyebakolera Obuganda nakakasa nti enteekateeka eno egenda kubaganyula nnyo.
Ate Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki yasabye abamagombolola okutwala ebyo byebasomeseddwa nga bikulu okusobola okutumbula empeereza yabwe n’abantu ba Kabaka baganyulwemu
Enteekateeka eno ey’okusomesa, okubangula n’okusisinkana Abaami b’Eggombolola zonna eziwera 174 mu Buganda ebeerawo buli mwaka era kati kafuuka kalombolombo.