Amawulire

Owek. Mayiga yeewuunyizza Gav’t olw’okusima oluwonko wakati w’abasomesa ba ‘Arts’ ne ‘Sciences’

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yeewuunyizza Gavumenti olwa ky’ayise okusima oluwonko wakati w’abasomesa ba ssaayansi n’ab’amasomo ag’embeera z’abantu n’ensi aga ‘arts’ n’egamba nti tewali masomo gayinza kwewanirira gokka, ng’eno y’ensonga okugakwata mu ngeri ey’ekyekanyi.

Bino Mayiga yabyogeredde Makerere gye yabadde mu mmisa eyabadde ku St. Augustine’s Chapel e Makerere, eyategekeddwa abaasomerako ku ssomero lya St. Henry’s College Kitovu nga bajaguza okuweza emyaka 100 ng’essomero eryo liweereza mu byenjigiriza eby’omutindo.

”Amasomo aga ssaayansi n’aga ‘Arts’ galinga musana na nkuba: omusana bwe gwaka ennyo ebirime bifa, ate era enkuba bw’etonnya ennyo omusana ne gutayaka era ebirimu bifa!  Noolwekyo oli bw’azaala ekisaawe ky’alinamu ekitone, okugeza okukuba ennanga, obusawo, oba busomesa oba busossodooti n’alondoola ekitone ekyo nga by’asomye mu ssomero bye bimuyambye okukituukako olwo omuntu oyo gwe twogerako nga omuyigirize.” Mayiga bwe yagambye.

Olwo n’awa Gavumenti amagezi nti esaana esseewo enkola etaleka luwonko mu nsasula y’abakozi baayo naddala abasomesa ab’amasomo ag’engeri zombi kubanga gonna geetaagisa n’agamba nti kino kya kuggyawo enjawukana mu bakozi naddala mu mbeera ng’eriwo ey’akeediimo k’abasomesa ba ‘arts’ nga basaba okwongezebwa omusaala nga bwe kyakoleddwa ku ba ssaayansi.

Bino we bijjidde ng’abasomesa bano bakyagaanyi okudda mu bibiina okusomesa nga bagamba nti kye bakola baakikola mu mateeka newankubadde Gavumenti ng’eyita mu muwandiisi ow’enkalakkalira owa Minisitule y’abakozi baayo, Catherine Bitarakwate Musingwiire ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde yafulumya ekiwandiiko ekyawadde abasomesa nsalessale wa nga June 24 okuba nga bazzeeyo okusomesa oba okulekulira eri abo abatasobola kuguminkiriza mbeera.

Ku Lwomukaaga, ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa bano ekya UNATU era omwogezi waakyo, Filbert Baguma Bates yakakasizza abasomesa nti tebalina kubaako kutya kubanga baategese dda ttiimu ya bannamateeka kabiriiti okukuba Gavumenti mu kkooti ssinga ebaako omusomesa gw’egoba nga yeekwasa nti yasuuliridde emirimu gye bwe yeetabye mu kwekalakaasa kuno, n’agamba nti buli kye bakola kiri mu mateeka era akeediimo kakyagenda mu maaso okutuusa nga Gavumenti ekoze kye bagisaba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top