Amawulire

Owek.Mpuuga atabukidde aba NUP abeegwanyiza ekifo kya LOP.

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba atabukidde bannakibiina ki National Unity Platform abaagala okutwala entebe y’akulira oludda oluvuganya okulaga obusobozi bwabwe era balinde ekisanja kye eky’emyaka 2 n’ekitundu okuggwako.

Owek. Mpuuga agamba nti ekifo kino tafukamirangako kukisaba naye kyamuweebwa nga basinziira ku busobozi bwe n’obumalirivu bw’alina ng’ omuntu.

“Nange woofiisi yange gyendimu waliwo abalowooza nti bebandigibaddemu naye ndowooza  ekyo kyabujega. Nze sakeerako kukuba kampeyini okufuuka LOP, nze ndi kitundu butundu eky’obukulembeze bwa NUP,” Owek. Mpuuga bw’ategeezezza omukutu guno mu mboozi eyakafubo.

Ono ategeezezza nti balina omulimu omunene okulaba nga bawuliziganya ng’ekibiina wakati wabwe abali mu Palamenti awamu ne bannabwe abali ebweru waayo.

Mpuuga agamba nti ekizibu ekinene ekiriwo ku bantu abali ebweru wa Palamenti beebo abataagendayo nga kati bakola buli kimu okukkakanya n’okumalamu ekitiibwa abo ababawangula nga byonna biva kukubatwalako kkaadi z’ ekibiina.

Ku bantu abamuli obukiika, Mpuuga abasabye okumanya nti ye Mugabe wa lutabaalo era luno si lulwe wabula lwa kununula bannayuganda nasaba abalowooza nti basobola okukola obwa LOP okumukira okulinda aweebwe omukisa.

Mpuuga agamba nti nga tebanakayanira kifo kyalimu, balina okusooka okukakasa ensi nti babaka balungi era balage ensi nti bagezezaako okumuyamba nga akulira oludda oluvuganya naye kino bwekirema balina kusirika balinde, ekibiina gwekinalonda oluvannyuma lw’ekisanja kye okuggwako.

Abamulima empindi ku mabega, Mpuuga abalangidde enkwe nabasaba bakomye okukola ebintu eby’ekyejjo bweba baagala ekibiina kino okutwala obuyinza kuba byebakola bizza olutabaalo lwebaliko emabega.

Okusinziira ku Mpuuga, olugendo lwabwe bano balumalamu amaanyi olw’okweyagaliza  nebeerabira abantu nebadda okumulwanyisa  nga beerabidde nti ye Mpuuga munt ubuntu era akadde konna Palamenti agifuluma.

Kino kiddiridde abamu ku bakulu mu kibiina okutandika okulumiriza Mpuuga obutakola kimala nga akunga banne okuzira entuula za Palamenti n’okunyweza enkola ey’okuguguba.

Ku kino Mpuuga ategeezezza nti wadde enkola eno nnungi naye ate terina kukola buli wamu nga waliwo lwekyetaagisa okuteesa ku mateeka aganyigiriza bannayuganda buli lunaku wadde nga ekiruubirirwa ekinene kya kuggyako bukulembeze bwe Pulezidenti Museveni.

Mpuuga agamba nti olw’okuba NUP kibiina ekikyali ekito mukumukwasa obukulembeze buno tewaliwo ntekateeka nnungamu gyebalina kugoberera era atambulira ku manifesto yakibiina etafuna mukisa kubukala mumitima gyabannauganda mu kalulu ka 2021.

Ono ategeezezza nti omuwatwa oguliwo ku bikolebwa munda mu Palamenti n’ebweru waayo kyekirowoozesa abantu abamu nga bwebalina obutakkanya naye nakakasa nti talina kyakola nga tasoose kwebuuza ku kibiina.

Kinajjukirwa nti oluvannyuma lw’ekibiina ki NUP okuwangula ebifo ebisinga obungi ku ludda oluvuganya nekifuna ababaka abawera 55, Pulezidenti waakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu yalina okulonda akulira oludda oluvuganya era bwatyo nalonda Owek. Mathias Mpuuga Nsamba.

Kati ekirindiriddwa kwekulaba oba anaayongera ekisanja ekirala nga kino eky’emyaka 2 n’ekitundu kiweddeko oba Kyagulanyi anakyusaamu nga abamu ku bannakibiina Mpuuga balumiriza enkwe bwebaagala akole.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top