Minisita w’Amawulire n’ensonga za Kabineeti, Owek. Noah Kiyimba akuutidde abantu ba Buganda bulijjo okwettanira obweggasi kibayambe okulaakulana.
Bino Owek. Kiyimba yabyogedde atikkula oluwalo okuva bannasingo ne bannakyadondwa olusobye mu bukadde 24 ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo ku Lwokuna.
Minisita Kiyimba yagambye nti ebika bikulu nnyo mu Buganda era bwe binywezebwa, kisoboka okutambulira awamu n’okukuuma obuwangwa olwo Buganda nedda ku ntikko.
Ono yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okutalaaga mu bantu ba Kabaka nga babakubiriza okuleeta Oluwalo, n’asiima abo bonna abaleekereza emirimu nebatuukiriza ennono eno.
Minisita yakubirizza abaami ba Kabaka okukola n’enteekateeka erambikiddwa obulungi era bazitambulireko, kibanguyize mu ntambuza y’emirimu eyo mu bitundu byabwe.
Yawadde Bannassingo amagezi okwekolamu ebibiina by’obwegassi bakulaakulanire wamu n’okunyiikira okusomesa abaana kibayambe okulinnyisa omutindo gw’ebyenjigiriza mu kitundu kyabwe.
Ye Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Oweek Joseph Kawuki,yatenderezza obujjumbize bw’abantu mu nteekateeka z’Obwakabaka n’abakuutira obutaddirira Buganda esobole okulaakulana.
Omwami wa Kabaka ow’e Kyaddondo, Oweek Agnes Nakibirige Ssempa, yategeezezza nti ebitongole bingi biyayaana okukiika embuga olw’ebigambo by’abaami bye bababuulira ku mirimu gy’Obwakabaka.
Kulw’ abakulembeze mu gavumenti ya wakati, Hon. Godfrey Kiwanda Ssuubi, ne Hon. Christine Nakimwero, omubaka omukyala owa District ya Kiboga, bategeezezza nti abantu be Ssingo banyiikivu mu buweereza bw’Obwakabaka naddala ensonga y’Emmwanyi Terimba, era ne basaba Katikkiro abafissizewo akadde abalambuleko.