Amawulire

Owek. Nsibirwa asabye abazadde okugunjula obulungi abaana .

Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri, era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Wagwa Nsibirwa, asabye abazadde bulijjo okufaayo ku ngeri gyebakuzaamu abaana babwe bwebaba baagala okugasa ensi.

Okusaba kuno Owek. Waggwa akukoledde Lubaga gyeyayitiddwa ng’omugenyi omukulu ku matikkira g’ettendekero lya American Leadership Academy agasoose wakati w’omukago gweririna ne Ssettendekero wa Ndejje.

Owek. Waggwa annyonnyodde nti ebizibu ebisinga okusomooza ensi nga Uganda biva ku bukulembeze awamu n’engero abantu gyebalabamu ensonga kuba bangi bafa nnyo ku nsimbi nebeerabira ensonga ezigasiza abantu awamu.

Okusinziira ku Owek. Waggwa abakulembeze bangi amaanyi bagamalira ku ngeri gyebayinza kwelemeza mu buyinza nasaba abazadde okuyambako okukyuusa kino nga bayita ku kugunjula abaana.

Owek. Nsibirwa yeebazizza  abatandisi b’ettendekero lino olw’okwolesebwa kuno naddala mu kiseera kino nga eggwanga lyetaaga okufuna abakulembeze abalungi abalimu ensa.

Asabye abatikkiddwa, okweyambisa obukugu n’obukodyo bye bafunye mu ttendekero lino bayambe abantu okwangaanga ebisoomoozo, ate n’okwekulaakulanya, ate n’okuba eky’okulabirako eri bavubuka bannabwe, nga tebeeganya mirimu.

Amyuka Cansala w’ettendekero lino,  Katie Lowe, ayozaayozezza abatikkiddwa olw’obukugu bwe bafunye, n’abasaba okuba ab’enjawulo nga bekkiririzaamu.

Amyuka Ssenkulu wa Ndejje University, Prof. Eriabu Lugujjo, yeebazizza nnyo abatandise b’ettendekero lino, n’akubiriza abavubuka okulyettanira kuba basobola okusomera yonna gye bali nga beeyambisa tekinologiya.

Asabye bannamukago b’ettendekero lino ab’e California, okwongera okuwa Ndejje University, amasomo era batandikewo  woofiisi n’enkola ey’omutimbagano eneeyamba ennyo ettendekero lino.

Kinajjukirwa nti ettendekero  American Leadership Academy, ly’atandikibwa Omw. David Ssejinja, n’Omuky. Miria Bukirwa, n’ekigendererwa eky’okubangula abayizi mu nsonga ez’ebyobukulembeze  era nga litikidde abayizi 51 ku bukulembeze.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top