OLIVIA Mukisa ow’e Kabowa mu Kampala yeetaga obukadde bw’esimbi obusoba mu 25, okulongosebwa ekizimba ku bwongo. Mukisa agamba nti yatuuka ekiseera ng’atawanyizibwa omutwe, kammunguluze n’okusannyalala, n’agenda mu ddwaaliro e Kibuli ne bazuula ng’alina ekizimba ku bwongo ekyetaaga okulongosa. Asaba abazirakisa okumuyamba . asobola obuyambi busse ku account nnamba 6001101690 mu ABSA Bank.
Ow’ekizimba ku bwongo asaba buyambi.
By
Posted on