Amawulire

Paapa Francis yalabiseeko ku lwokuna eri ensi nga bamutambuliza mu kagaali

Pope Francis ku lwokuna yakubiddwa ebifaananyi nga bamutambuliza mu kagaali bwe yabadde agenze okwetaba mu lukiiko yabadde n’ekibiina ky’ababiikira wamu ne bannaddiini abalala, ne gufuuka omulundi ogusoose Omulangira wa Eklezia ono okulabikakoo mu lujjudde nga tasobola kwetambuza.

Paapa Francis (89) abadde yategeezaako olumu ku mpapula z’amawulire mu nsi ya Yitale nti okumala akaseera abadde n’obulumi mu vviivi era nga kino kimuviiriddeko okusazaamu eng’endo ze nnyingi n’obuteetaba ku mikolo naddala mu mwezi oguwedde ogwa April olw’obuvune buno.

Paapa ono enzaalwa y’eggwanga lya Argentina abadde alumbibwa obulwadde obw’enjawulo mu myaka egiyise, omuli okumulongoosa ekyenda, okulumwa omugongo n’atasobola kwetaba ku mikolo egimu.

Bino we bijjidde nga Paapa abadde yalaga dda nga bw’ali owookukyalako mu mawanga omuli: Lebanon, South Sudan, Democratic Republic of Congo ne Canada mu myezi gino ena okuva kati.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top