Amawulire

Palamenti etandise okunoonyereza ku KCCA.

Akakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government  aka COSASE katandika leero okunonyereza ku  vvulugu ali mu kitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ki KCCA eyanokolwayo ssaabalondoozi w’ebitabo bya government mu alipoota y’omwaka gw’ebyensimbi 2021/2022.

Vvulugu Ono kuliko okukozesa obubi ensimbi z’omuwi w’omusolo naddala ensimbi ezeewolebwa okuva mu bbanka yensi yonna okukola enguudo nemyala mu kibuga.

Mulimu era okunnoonyereza ku kugaba contracts mu ngeri etagoberera mateeka, entambuza y’emirimu mu kakiiko keby’ettaka ka Kampala district land board, saako KCCA okwekobaana nabagiwaabira emisango mu kkooti gyebigwera nga KCCA ebaliyiridde obuwanana bw’ensim i.

Mu ngeri yrrmu akakiko ka COSASE katandiika okunonyereza kwako mu kiseera ng’olukiiko olukulemberwa omuloodi w’ekibuga Ssaalongo Elias Lukwago kyeruggye lukole alipoota eyayanika kwebaayita obubbi obuli mu kukola enguudo mu Kampala.

Alipoota yalaga nti olukiiko olwekikugu ku contacts zerwakola ne kampuni ezikola enguudo mu Kampala ,buli kilometer y’oluguudo esaasaanyizibwaako obuwumbi 15 ekifuula enguudo zomu Kampala ezisinga okubeera ez@ebbeeyi munsi yonna, songa zimala akaseera katono nezimerukamu ebinnya.

Joel Ssenyonyi ssentebbe wa COSASE agambye nti endagaano zenguudo ezikolebwa ne contracts endala okuli neza kampuni eziyoola kasasiro mu kibuga, zezimu ku zebetaaga okwetegereza mu kunonyereza kwayo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top