Amawulire

Palamenti etandise okunoonyereza ku Zaake ku by’okwogera ku kiwambabantu.

Akakiiko ka Palamenti akakola ku kukwasia empisa , eggulo ku Lwokusatu batandise okunoonyereza ku nneeyisa y’omubaka wa Munisipaali ye Mityana, Francis Zaake Butebi olw’okwogera ku kiwambabantu nga tafunye lukusa kuva wa Sipiika nga amateeka bwegalagira.

Akakiiko kano katandikidde mu nsisinkano etakkiriziddwamu bannamawulire nebakkaanya ku ngeri gyebagenda okukwatamu ensonga za Zaake okusobola okulaba nti wabaawo obwenkanya ku njuyi zombi.

Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Ssentebe w’ Akakiiko kano Abdul Katuntu yalambululidde bannamawulire ku ngeri gyagenda okukwatamu ensonga zino.

Okusinziira ku Katuntu, bakwongeramu n’abajulizi era kino kyakutandika ku Lwokubiri lwa wiiki ejja nga bakwebuuza ku bakugu mu bya kkamera za CCTV abali ku Palamenti kwebyo ebyaaliwo ku lunaku olwo.

Katuntu agamba nti mu bino byonna, Omubaka Zaake waddebe okubeerawo nga byonna bigenda mu maaso ne bannamateeka be era ajja kuweebwayo omukisa asoye abajulizi ebibuuzo.

Ono annyonnyodde  nti okunoonyereza n’entuula zonna bigenda kubeera mu lwattu okuggyako ku mutendera gw’okuwandiika alipoota ku byebanaaba bazudde.

Kinajjukirwa nti Kamisona wa Palamenti ono Zaake yasindikibwa mu kakiiko akakwasisa amateeka wiiki ewedde oluvannyuma lw’okujeemera amateeka ga Palamenti nasalawo okwogera ku kiwambabantu naddala abawagizi ba NUP ng’ omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa tamuwadde lukusa.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top