Amawulire

Palamenti eyagala omwenge gutandike okutundibwa ssaawa 6 ez’emisana.

Palamenti ekkiriza omubala omukyala owa disitulikiti ye Tororo Sarah Opendi atandike okubaga ku tteeka erigaana amabaala okutunda omwenge nga ssaawa 6 ez’emisana tezinawera awamu n’obutasukka ssaawa 12  ez’okumakya nga bakyagutunda.

Ebbago lino lituumiddwa ‘ Alcoholic Drinks Control Bill 2022,’ nga singa linafuuka etteeka, omuntu yenna anaasangibwa nga atunda omwenge wansi w’essaawa 6 ez’omutuntu oba 12 ez’okumakya ajja kusibwa emyaka 10 oba okuwa engasi ya bukadde 20 oba byombi.

“Omuntu takkirizibwe kutunda wansi wa ssaawa 6 ez’okumakya wadde okugutunda okusukka ssaawa 12 ez’okumakya. Omuntu anaasangibwa nga amenye etteeka lino ajja kuba azizza omusango era asibwe emyaka 10 oba asasule obukadde 20 oba byombi,” Ebbago bwerisoma.

Opendi bweyabadde asaba olukusa okugenda okuteekaka ebbago lino yagambye nti waliwo obwetaavu okukoma ku  budde abantu bwebanyweramu omwenge era kiyambe okukendeeza ebbula bikolwa.

Okusinziira ku Opendi endwadde ezimu eziriwo kati ziva ku mwenge ogw’obulabe so nga n’engeri abantu gyebanywamu omwenge ereetedde obutabanguko mu maka okweyongera.

Mu tteeka lino. tekkirizibwa kuguza musirikale oba mujaasi ali mu byambalo omwenge oba okugutundira mu mmotoka wadde okuguguza abaaana abali wansi w’emyaka 18 wadde okutunda omwenge gw’obuveera.

Opendi agamba nti wadde wabaddewo amateeka nga ‘The Enguli (Manufacture and Licensing) Act, the Portable Spirits Act cap.97 ne Liquor Act’ gano gakolebwa mabega nnyo nga kati ebiseera bikyuuse nga omwenge omupya oguli ku katale tegwogerwako.

Kinajjukirwa nti alipoota y’ ekitongole ky’ensi yonna eky’obulamu ki  World Health Organisation (WHO) eya 2018 yalaga nti Uganda yeemu ku nsi ezisinga okunywa omwenge mu Africa.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top