Olwa leero olwokusatu parliament lwegenda okukubaganya ebirowoozo nookusalawo ku alipoota y’akakiiko ka parliament akakwasisa empisa, egenderera okuggya obwesige mu minister omubeezi oweby’ettaka Persis Namuganza agambibwa okunyomoola parliament.
Akakiiko Kano mu alipoota yaako ,kaalumiriza minister Namuganza okuvoola parliament nokugiyisaamu amaaso ,nti bweyeenyigira mu vulugu wokugaba ettaka ly’e Naggulu.
Minister Namuganza yagamba nti ettaka eryogerwako president Yoweri Kaguta Museveni nti yeyamulagira okuligabira abantu beyaliwa
Wiiki ewedde, parliament yassomerwa alipoota eno, akakiiko nekasingisa Minister Namuganza omusango ,era kaasalawo nti minister Namuganza agibwemu obwesige nti tasaanidde kubeera minister.
Amyuka sipiika Thomas Tayebwa yalagira ensonga eno ereetebwe mu ddiiro wiiki eno, parliament egikubaganyeeko ebirowoozo, olwo nno balyoke basalewo ekiddako.
Ababaka okuli Solomon Silwanyi nomubaka omukyala owa district ye Tororo Sarah Opendi bebaaloopa minister Namuganza ,bwebaamulumiriza nti yanyomoola parliament